Add parallel Print Page Options

Obwakabaka bwa Sulemaani Bunywezebwa

13 (A)Adoniya omwana wa Kaggisi, n’alaga eri Basuseba nnyina Sulemaani. Basuseba n’amubuuza nti, “Ojja mirembe?” N’addamu nti, “Weewaawo mirembe.” 14 N’ayogera nate nti, “Nnina kye njagala okukubuulira.” Basuseba n’amuddamu nti, “Kimbuulire.” 15 Adoniya n’amugamba nti, “Nga bw’omanyi, obwakabaka bwali bwange, era ne Isirayiri yenna baatunuulira nze nga kabaka waabwe. Naye ebintu byakyuka, era n’obwakabaka bugenze eri muganda wange, kubanga bumuweereddwa Mukama. 16 Kaakano nkusaba ekigambo kimu, era tokinnyima.” Basuseba n’amugamba nti, “Kyogere.”

17 (B)Adoniya n’ayogera nti, “Nkwegayiridde gamba Sulemaani kabaka ampe Abisaagi Omusunammu okuba mukyala wange, kubanga kabaka anaakuwuliriza.”

18 Basuseba n’addamu nti, “Kale, nnaakwogererayo eri Kabaka.”

19 (C)Awo Basuseba bwe yagenda eri Kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya, Kabaka n’agolokoka okumusisinkana, n’akutama n’oluvannyuma n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. N’atumya entebe ey’obwakabaka endala nnyina atuuleko[a], n’atuula ku mukono gwa kabaka ogwa ddyo.

20 Basuseba n’amugamba nti, “Nkusaba ekigambo kimu ekitono, era tokinnyima.”

Kabaka n’amuddamu nti, “Kisabe, maama, nange siikikumme.” 21 (D)N’ayogera nti, “Kkiriza Abisaagi Omusunammu afumbirwe muganda wo Adoniya.”

22 (E)Kabaka Sulemaani n’addamu nnyina nti, “Lwaki osabira Adoniya, Abisaagi Omusunammu? Musabire n’obwakabaka, ate obanga ye mukulu wange; ky’ekyo, sabira ye, ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya!”

23 (F)Awo Kabaka Sulemaani n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, Adoniya bw’atasasule n’obulamu bwe olw’ekyo ky’asabye! 24 (G)Kale nga Mukama bw’ali omulamu, oyo annywezezza ku ntebe ey’obwakabaka eya kitange Dawudi, era ampadde olulyo nga bwe yasuubiza, Adoniya anattibwa leero!” 25 (H)Awo Kabaka Sulemaani n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada okutta Adoniya, era Adoniya n’attibwa.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:19 Mu nsi ezo ez’obuvanjuba Nnabagereka yalina emirimu egy’obwakabaka gye yakolanga, era yali wa kitiibwa nnyo mu mpya za kabaka.