1 Ebyomumirembe 29:6-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Awo emitwe gy’ennyumba, n’abataka b’ebika bya Isirayiri, n’abaduumizi ab’olukumi n’ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa. 7 (B)Ne bawaayo zaabu ttani kikumi mu kyenda ne kilo kinaana mu nnya, ne ffeeza ttani bisatu mu nsanvu mu ttaano, n’ebikomo ttani lukaaga mu nsanvu mu ttaano, n’ebyuma ttani enkumi ssatu mu lusanvu mu ataano, olw’omulimu gwa yeekaalu ya Katonda.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.