Add parallel Print Page Options

(A)Abafirisuuti ne batya. Ne boogera nti, “Lubaale azze mu nkambi. Tufudde! Tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo. Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale[a] bano ab’amaanyi? Bano be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri n’endwadde n’ebibonoobono ebya buli ngeri mu ddungu. (B)Abafirisuuti, mugume omwoyo, mube basajja. Bwe kitaabe bwe kityo munaaba baddu b’Abaebbulaniya nga bo bwe babadde abaweereza bammwe. Mube basajja mulwane.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 4:8 Abafirisuuti bakkiririzanga mu bakatonda bangi.