Add parallel Print Page Options

Abafirisuuti ne banyiikira okugoberera Sawulo ne batabani be, era ne batta Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisuwa.

Read full chapter

33 (A)Neeri n’azaala Kiisi, ne Kiisi n’azaala Sawulo, ne Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.

Read full chapter

17 (A)Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Nzija kukuwa muwala wange omukulu Merabu, abe mukyala wo, mpeereza n’obuvumu era lwana entalo za Mukama.” Sawulo n’ateesa mu mutima gwe nti, “Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okumukolako akabi. Ekyo Abafirisuuti be balikikola.” 18 (B)Naye Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Nze ani, n’ennyumba ye waffe be baani, era n’ekika kya kitange kye kiki mu Isirayiri, nze okuba mukoddomi wa kabaka?” 19 (C)Naye ekiseera bwe kyatuuka omuwala wa Sawulo Merabu okuweebwa Dawudi, ne bamuwa Aduliyeri Omumekolasi okumuwasa.

20 (D)Awo muwala wa Sawulo omulala Mikali yali ayagala Dawudi, era Sawulo bwe yakiwulira, n’akisanyukira.

Read full chapter