Add parallel Print Page Options

Dawudi, Nabali ne Abbigayiri

25 (A)Awo Samwiri n’afa, Isirayiri yenna ne bakuŋŋaana okumukungubagira. Ne bamuziika ewuwe e Laama.

Awo Dawudi n’avaayo n’aserengeta mu ddungu Palani. (B)Mu biro ebyo waaliwo omusajja omugagga ennyo mu Mawoni eyalina eby’obugagga e Kalumeeri. Yalina endiga enkumi ssatu n’embuzi lukumi. Byali biseera bya kusala byoya eby’endiga ze, e Kalumeeri. (C)Erinnya ly’omusajja ye yali Nabali, ne mukyala we nga ye Abbigayiri. Yali mukyala mutegeevu era nga mulungi, nga bw’omutunuulira alabika bulungi, naye bba Omukalebu, nga wa kkabyo kyokka nga mukalabakalaba mu mirimu gye.

Nabali yali ng’asala ebyoya by’endiga ze, Dawudi n’akiwulira. Dawudi n’atuma abavubuka kkumi, n’abagamba nti, “Mwambuke e Kalumeeri eri Nabali mumulamuse mu linnya lyange. (D)Mumugambe nti, Emirembe gibeere ku ggwe n’ennyumba yo, ne ku bintu byo byonna.

(E)“Mpulira nti ekiseera eky’okusala ebyoya by’endiga kituuse. Abasumba bo bwe baabeeranga awamu naffe, tetwabayisanga bubi, era n’ebbanga lyonna lye baamala e Kalumeeri tewali na kimu ku bintu byabwe ekyabula. (F)Buuza abaweereza bo, be bajulirwa. Noolwekyo abavubuka bange balabe ekisa mu maaso go kubanga bazze mu kiseera eky’okukwatiramu embaga. Nkusaba obawe kyonna ky’olinawo, oweerezeeko ne mutabani wo Dawudi.”

Awo abasajja ba Dawudi bwe baatuuka, ne bawa Nabali obubaka obwo mu linnya lya Dawudi, ne balindirira. 10 (G)Nabali n’addamu abaweereza ba Dawudi nti, “Dawudi oyo ye ani? Mutabani wa Yese oyo ye ani? Ennaku zino abaweereza bangi badduka ku bakama baabwe. 11 (H)Nnyinza ntya okuddira emigaati gyange, n’amazzi, n’ennyama bye ntekeddeteekedde abasajja bange abasala ebyoya ne mbiwa be sirina kye mbamanyiiko?”

12 Awo abasajja ba Dawudi ne bakyuka ne baddayo ne bamutegeeza buli kigambo nga bwe bategeezebbwa. 13 (I)Dawudi n’agamba abasajja be nti, “Mwesibe buli muntu ekitala kye!” Buli omu ku bo ne yeesiba ekitala kye, ne Dawudi ne yeesiba ekikye, abasajja nga bikumi bina ne bayambuka ne Dawudi, ebikumi bibiri ne basigala nga bakuuma eby’okukozesa.

14 (J)Omu ku baddu ba Nabali n’agamba Abbigayiri mukyala wa Nabali nti, “Dawudi yatuma ababaka ng’ali mu ddungu okulamusa mukama waffe naye n’abavuma; 15 (K)ate nga abasajja abo baali ba kisa nnyo gye tuli, era tebalina kabi ke baatukola newaakubadde okubuza ekintu n’ekimu ku bintu byaffe bwe twali mu ddungu nabo. 16 (L)Baaberanga ng’ekisenge okutwetooloola emisana n’ekiro, ekiseera kyonna kye twamala nabo nga tulunda endiga. 17 (M)Kaakano kifumiitirizeeko, olabe ky’oyinza okukola, kubanga akabi kajjidde mukama waffe n’ennyumba ye yonna. Musajja atabuulirirwa.”

18 (N)Awo amangwago Abbigayiri n’ayanguwa n’addira emigaati ebikumi bibiri, n’ebita bibiri ebya wayini, n’ennyama ey’endiga ttaano ennongoose obulungi, n’ebigero bitaano eby’eŋŋaano ensiike, n’ebitole kikumi eby’ezabbibu enkalu, n’ebitole ebikumi bibiri eby’ettiini, n’abiteeka ku ndogoyi. 19 (O)N’agamba abaweereza be nti, “Munkulemberemu, nange nzija.” Naye n’atabuulirako bba Nabali.

20 Awo bwe yali yeebagadde endogoyi ye, n’ayita kumpi n’olusozi nga lumukweka. N’asisinkana Dawudi n’abasajja be nabo nga baserengeta okumwolekera. 21 (P)Dawudi yali yakamala okwogera nti, “Nakuumira bwereere ebintu byonna eby’omusajja ono bwe byali mu ddungu ne wataba na kimu ekyabula; bw’atyo bw’ansasudde, obubi olw’obulungi. 22 (Q)Kale Katonda akole bw’atyo abalabe ba Dawudi n’okukirawo, enkeera bwe wanaabaawo omusajja we n’omu anaasigala nga mulamu.”

23 (R)Awo Abbigayiri bwe yalengera Dawudi, n’ayanguwa okuva ku ndogoyi ye, n’avuunama mu maaso ga Dawudi. 24 N’agwa ku bigere bye n’ayogera nti, “Mukama wange omusango gubeere ku nze nzekka. Nkwegayiridde leka omuweereza wo ayogere naawe; wuliriza omuweereza wo ky’anaayogera. 25 (S)Mukama wange aleme okussa omwoyo ku musajja omusirusiru oyo Nabali, kubanga n’erinnya lye litegeeza musirusiru, atambulira mu busirusiru bwe. Naye nze omuweereza wo, ssaalabye bavubuka mukama wange be watumye.

26 (T)“Kale nno mukama wange, nga Mukama bw’ali omulamu, akubedde obutayiwa musaayi newaakubadde obutawalana ggwanga n’omukono gwo, era naawe bw’oli omulamu, abalabe bo, n’abo abakuyigganya bonna mukama wange babeere nga Nabali. 27 (U)Era n’ekirabo kino omuweereza wo ky’aleetedde mukama wange kiweebwe abavubuka abatambula ne mukama wange. 28 (V)Nkwegayiridde osonyiwe ekyonoono kw’omuweereza wo, era Mukama talirema kuzimbira mukama wange obwakabaka obw’enkalakkalira, kubanga mukama wange alwana entalo za Mukama. Waleme okulabika ekikolwa ekikyamu kyonna mu ggwe ennaku zonna ez’obulamu bwo. 29 (W)Ne bwe walibaawo omuntu yenna alikulumba okukuyigganya okutwala obulamu bwo, obulamu bwa mukama wange bukuumibwenga Mukama Katonda wo mu lulyo olw’abalamu. Naye obulamu bw’abalabe bo alibuvuumuula ng’ejjinja bwe liva mu nvuumuulo. 30 (X)Awo Mukama bw’alikolera mukama wange ebirungi byonna bye yamusuubiza, era n’amufuula okuba omukulembeze wa Isirayiri, 31 (Y)mukama wange talibeera na kulumirizibwa mu mutima olw’okuyiwa omusaayi awatali nsonga, wadde okwewalanira eggwanga. Era Mukama bw’alikukolera ebirungi mukama wange, ojjukiranga omuweereza wo.”

32 (Z)Awo Dawudi n’agamba Abbigayiri nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri atenderezebwe, akutumye okujja okunsisinkana leero. 33 (AA)Akuwe omukisa oyo akubedde okusalawo obulungi, era akubedde okundabula obutayiwa musaayi leero n’obuteewalanira ggwanga. 34 Kubanga mazima ddala nga Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ali omulamu, ambedde obutakukolako kabi, singa toyanguye kujja kunsisinkana, tewandibadde musajja n’omu owa Nabali eyandiwonyeewo, obudde we bwandikeeredde enkya.”

35 (AB)Awo Dawudi n’akkiriza okutwala Abbigayiri bye yaleeta, n’ayogera nti, “Genda ewuwo mirembe. Mpulidde ebigambo byo, era nzikkirizza okwegayirira kwo.”

36 (AC)Awo Abbigayiri bwe yaddayo eri Nabali, n’amusanga ng’ali mu nnyumba, era ng’akoze embaga, ng’eya kabaka. Yali asanyuukiridde nnyo, era ng’atamidde, kyeyava tamunyega ku olwo, okutuusa enkeera. 37 Awo bwe bwakya, Nabali omwenge nga gumuweddeko, mukyala we n’amutegeeza ebigambo ebyo byonna, naye omutima gwe ne gukakanyala, ne guba ng’ejjinja. 38 (AD)Oluvannyuma lw’ennaku nga kkumi, Nabali n’afa ekikutuko.

39 Awo Dawudi bwe yawulira Nabali ng’afudde, n’ayogera nti, “Mukama yeebazibwe anwaniridde, Nabali olw’obubi bwe yankola. Mukama ambedde, era akuumye omuweereza we obutakola kikyamu, n’ateeka ebikolwa bya Nabali ebibi ku mutwe ggwe.”

Awo Dawudi n’atumira Abbigayiri, n’amusaba afuuke mukazi we ng’amusaba okumuwasa. 40 Abaweereza ba Dawudi ne bagenda e Kalumeeri ne bagamba Abbigayiri nti, “Dawudi atutumye tukutwale omufumbirwe.”

41 N’avuunama amaaso ge n’ayogera nti, “Laba omuweereza wo mweteefuteefu okunaazanga ebigere by’abaweereza ba mukama wange.” 42 (AE)Awo Abbigayiri n’ayanguwa okwebagala endogoyi, ng’awerekeddwako abaweereza bataano, n’agenda n’ababaka ba Dawudi, n’amufumbirwa. 43 (AF)Dawudi yali awasizza ne Akinoamu[a] ow’e Yezuleeri, era bombi ne baba bakyala be. 44 (AG)Kyokka Sawulo yali agabidde muwala we Mikali, eyali mukyala wa Dawudi, Paluti mutabani wa Layisi ow’e Galimu.

Footnotes

  1. 25:43 Akinoamu ye yali mukyala wa Dawudi eyasooka (27:3) era ye nnyina wa mutabani we omukulu ayitibwa Amunooni

撒母耳逝世

25 撒母耳死了,以色列众人都聚集起来,为他哀哭,把他埋葬在拉玛他自己的家里。大卫起身,下到巴兰的旷野去。

大卫遣仆求拿八馈赠

在玛云有一个人,他的产业在迦密。他是一个很富有的人,有绵羊三千只,山羊一千只,那时他正在迦密剪羊毛。 那人名叫拿八,他的妻子名叫亚比该。这女人既聪明,又美丽。但那男人为人粗暴,又行事凶恶。他是个迦勒族的人。 大卫在旷野听说拿八正在剪羊毛, 就差派十个仆人,对他们说:“你们上迦密去见拿八,以我的名义向他问安。 你们要这样说:‘愿你长寿!愿你平安!愿你的家平安!愿你所有的一切都平安! 现在我听说有人为你剪羊毛。你的牧人与我们在一起的时候,我们都没有侮辱他们;他们在迦密的日子,也从没有遗失过甚么。 你可以问问你的仆人,他们必会告诉你。愿我派来的这些仆人在你眼前蒙恩,因为我们是在好日子来的,请你把手中所有的,随便赏赐一点给你的仆人和你的儿子大卫。’”

大卫的仆人到了,就以大卫的名义,把这些话都对拿八说了,然后等候答复。

拿八辱骂仆人

10 拿八回答大卫的仆人说:“大卫是谁?耶西的儿子是谁?现在离开主人逃走的仆人太多了。 11 我怎能把我的饼、我的水,和我为剪羊毛的人宰杀的肉,给那些我不知道从哪里来的人呢?” 12 于是大卫的仆人转回原路,回去了。他们到了以后,就把这一切话都告诉大卫。 13 大卫对跟随他的人说:“你们各人都佩上刀。”他们各人就佩上自己的刀,大卫也佩上自己的刀。跟随大卫上去的约有四百人,有二百人留下来看守器具。

14 拿八的一个仆人告诉拿八的妻子亚比该说:“大卫从旷野派遣使者来向我们的主人问候,主人却辱骂了他们。 15 但是,那些人对我们很好。我们在田野与他们往来的时候,他们都没有侮辱我们,我们也从没有遗失过甚么。 16 我们与他们在一起牧羊的日子,他们日夜都作保护我们的墙。 17 现在,你要想一想,看看你该怎么办,因为灾祸必定临到我们的主人和他的全家。他是一个性情凶恶的人,没有人敢对他说话。”

18 亚比该急忙拿了两百个饼、两皮袋酒、五只预备好了的羊、十七公斤烘好了的穗子、一百个葡萄饼、两百个无花果饼,都驮在驴背上, 19 然后对她的仆人说:“你们先去,我随着你们来。”这事她却没有告诉她的丈夫拿八。 20 亚比该骑着驴,正从山坡下来,忽见大卫和跟随他的人也正从对面迎着她走下来,亚比该就与他相遇了。 21 大卫曾经说过:“我在旷野看守这人一切所有的,使他一切所有的一样也没有失落,实在是白费心机了。他竟然对我以恶报善。 22 如果我让这人一切所有的,就是一个男丁,留到明天早晨, 神怎样惩罚大卫的仇敌,愿他也怎样加倍惩罚我。”

亚比该求大卫饶恕

23 亚比该见了大卫,就急忙从驴背下来,俯伏在大卫面前,脸伏于地,向他叩拜。 24 她又俯伏在大卫的脚前,说:“我主啊,愿这罪孽归我。求你容婢女向你讲话,求你听婢女所说的话。 25 请我主不要把这个性情凶恶的人拿八放在心上。因为他的名字怎样,他的为人也怎样。他名叫拿八,他也真是愚笨。我主派来的仆人,你的婢女并没有看见。 26 我主啊,现在我指着永活的耶和华,又在你面前起誓,耶和华既然阻止了你流人的血,又阻止了你亲手报仇,愿你的仇敌和那些谋害我主的人,都像拿八一样。 27 现在,请把你婢女给我主带来的这礼物,赐给跟随我主的仆人。 28 求你饶恕你婢女的过犯。耶和华必为我主建立一个坚固的家,因为我主为耶和华争战;在你一生的日子里,在你身上也找不到甚么过错。 29 虽然有人起来追赶你,寻索你的命,我主的性命必得保全在耶和华你的 神生命的囊中。至于你仇敌的命,耶和华却要甩去,像从甩石机甩出去一样。 30 将来耶和华照着他应许的一切善待了你,立了你作以色列的领袖的时候, 31 我主就不致因为无缘无故流人的血或亲自报仇而良心不安,心里有愧了。耶和华恩待了我主以后,求你记念你的婢女。”

大卫息怒

32 大卫对亚比该说:“耶和华以色列的 神是应当称颂的!他今天差派你来迎接我。 33 你的智慧和你的为人也是应当称赞的,因为你今天阻止了我流人的血,又阻止了我亲手报仇。 34 我指着那拦阻了我加害你的永活的耶和华以色列的 神起誓,如果你不及时来迎见我,到明天早晨,拿八所有的男丁必不留一个。” 35 大卫从亚比该手中接受了她带来给他的东西,就对她说:“你平平安安回家去吧!你看,我已经听了你的话,也答应了你的请求。”

拿八之死

36 亚比该到了拿八那里,他正在家中摆设筵席,好象帝王的筵席一样。拿八心里畅快,喝得烂醉如泥,所以无论大事小事亚比该都没有告诉他,直到第二天早晨。 37 到了早晨,拿八酒醒了,他的妻子才把这些事告诉他,他就吓得魂不附体,立刻中风瘫痪了。 38 大约过了十天,耶和华击打拿八,他就死了。

大卫娶亚比该为妻

39 大卫听见拿八死了,就说:“耶和华是应当称颂的,因为他为我伸了拿八羞辱我的冤,又阻止了仆人行恶,也使拿八的恶归到他自己的头上。”于是大卫派人去对亚比该说要娶她作他的妻子。 40 大卫的仆人到了迦密去见亚比该,对她说:“大卫差派我们到你这里来,要娶你作他的妻子。” 41 亚比该就起来,面伏于地叩拜,说:“婢女愿意作女仆,洗我主人的脚!” 42 亚比该急忙起来,骑上驴,带着五个跟随她的女仆,跟从大卫的使者去了,就作了大卫的妻子。

43 大卫先娶了耶斯列人亚希暖,她们二人都作了他的妻子。

44 扫罗已经把他的女儿米甲,就是大卫的妻子,赐给了迦琳人拉亿的儿子帕提作妻子。

大卫与亚比该

25 撒母耳死了,以色列人都聚在一起哀悼他,把他安葬在拉玛他自己的坟地里。之后,大卫到了巴兰的旷野。 玛云有个富翁拥有三千只绵羊和一千只山羊,他的产业在迦密。当时他正在迦密剪羊毛。 他名叫拿八,是迦勒族人,妻子名叫亚比该,既聪慧又漂亮。拿八粗暴凶恶。 大卫在旷野得知拿八正在剪羊毛, 就派十个部下到迦密去见拿八,吩咐他们以他的名义向拿八问安, 对拿八说:“愿你和你全家平安,愿你一切顺利! 我听说你正在剪羊毛。你的牧人与我们在迦密的时候,我们没有欺负过他们,他们没有丢过任何东西。 你问问你的仆人就知道了。请你恩待我的部下,因为今天是好日子,求你随手赏一点东西给晚辈我和我的部下。”

大卫的部下就去把大卫的话告诉拿八,等候他的答复。 10 拿八说:“大卫是谁?耶西的儿子是谁?这些日子有很多仆人逃离主人, 11 我怎能把饼、水和为剪羊毛者预备的肉分给一群来历不明的人呢?” 12 大卫的部下回去把拿八的话禀告大卫。 13 大卫听了,就吩咐众人备刀,他自己也带了刀去拿八那里。大卫带了四百人去,留下二百人看守营地。

14 拿八的一个仆人告诉拿八的妻子亚比该说:“大卫从旷野派人来向我们主人问安,主人却辱骂他们。 15 大卫的仆人对我们很好,从来不欺负我们。我们跟他们一起在田野的时候,从来没有丢过任何东西。 16 我们在他们附近牧羊的时候,他们昼夜不断地保护我们。 17 所以,请你赶快想个法子,不然主人和他全家恐怕都会大难临头。主人是个凶暴的人,没有人敢跟他说话。”

18 亚比该连忙用驴驮上二百块饼、两皮袋酒、五只宰好了的羊、三十七升烤麦、一百块葡萄饼和二百块无花果饼, 19 又吩咐仆人说:“你们先去吧!我随后就来。”她没有把这事告诉丈夫拿八。 20 她骑着驴下山的时候,就看见大卫和他的部下迎面而来。 21 大卫曾说:“我在旷野保护这人的羊群,使它们不致丢失,真是枉费功夫。他竟以怨报德。 22 如果我让他家里一个男子活到明早,愿上帝重重地惩罚我!”

23 亚比该看见大卫,连忙下驴俯伏下拜。 24 她俯伏在大卫脚前说:“我主啊,我愿意承担一切的罪过,请听婢女说。 25 请不要理会拿八那个恶徒,他人如其名[a],是个名符其实的蠢人。当时婢女没有见到你派来的使者。 26 我主啊,既然耶和华阻止你亲手杀人报仇,我就凭永活的耶和华和你的性命起誓,愿你的仇敌和伤害你的人都像拿八一样没有好下场。 27 现在,请把婢女带来的礼物分给你的部下吧。 28 请饶恕婢女的罪过,耶和华必使你的子孙世代做王,因为你是在为耶和华而战,愿你一生没有过错。 29 你就是被人追杀,也会在你的上帝耶和华的保护下安然无恙。你敌人的性命却要像石头一样被耶和华用投石器抛出去。 30-31 如果你现在没有杀人报仇,伤害无辜,到了耶和华照应许赐福给你、立你做以色列王的时候,你就不会心里不安了。我主啊,耶和华赐福给你的时候,求你不要忘了婢女。”

32 大卫对亚比该说:“以色列的上帝耶和华当受称颂!祂今天派你来见我。 33 你很有见识,你今天拦阻我亲手杀人复仇,值得称赞。 34 我凭阻止我杀你的以色列的上帝——永活的耶和华起誓,若不是你赶来迎接我,拿八家中不会有一个男子活到明天早上。” 35 大卫接受了亚比该的礼物,对她说:“安心回家吧,我答应你的请求。”

36 她回到家时,拿八正在大摆宴席,排场如御宴。她见拿八心情愉快,喝得酩酊大醉,就什么也没告诉他,等第二天早上再说。 37 次日清晨,拿八酒醒以后,他妻子把发生的一切告诉他,他吓得昏死过去,身体僵硬如石。 38 过了十天,耶和华击打拿八,他就死了。

39 大卫听见拿八的死讯,就说:“赞美耶和华!拿八羞辱我,祂为我申了冤,又阻止仆人行恶。祂使拿八得到了报应。”后来,大卫差遣使者去向亚比该求婚。 40 他的使者就启程到迦密去向亚比该传达大卫的心意。 41 亚比该听了,立刻俯伏在地上说:“婢女愿意效劳,为我主的仆人洗脚。” 42 她连忙骑上驴,带了五个侍女,跟随大卫的使者前去,做了大卫的妻子。 43 大卫已经娶了耶斯列人亚希暖,她们二人就同做大卫的妻子。 44 扫罗已经把自己的女儿——大卫的妻子米甲嫁给了迦琳人拉亿的儿子帕提。

Footnotes

  1. 25:25 拿八”意思是“愚蠢”。