Add parallel Print Page Options

(A)Bba Erukaana n’amubuuza nti, “Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?”

(B)Lwali lumu bwe baali bamaze okulya n’okunywa e Siiro, Eri yali atudde ku ntebe okumpi n’omulyango gwa yeekaalu[a], Kaana n’asituka n’agenda mu maaso ga Mukama Katonda. 10 (C)Mu kulumwa olw’ennaku ennyingi ennyo, n’akaaba nnyo amaziga ng’asaba Mukama Katonda.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:9 Yeekaalu eyogerwako wano ye Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu