1 Samwiri 22:6-19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Sawulo Atta Bakabona b’e Nobu
6 (A)Sawulo n’awulira nti Dawudi n’abasajja be bazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w’omumyulimu ku kasozi e Gibea ng’akutte effumu, nga n’abaserikale be bayimiridde okumwetooloola. 7 (B)Awo Sawulo n’abagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro n’ennimiro ez’emizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ekikumi? 8 (C)Kyemuvudde mundyamu olukwe mwenna? Tewali n’omu ku mmwe eyantegeeza mutabani wange ng’akola endagaano ne mutabani wa Yese. Tewali n’omu ku mmwe afaayo okuntegeeza nga mutabani wange awagira omuweereza wange okunteega, nga bw’akoze leero.”
9 (D)Naye Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awamu n’abaserikale ba Sawulo n’ayogera nti, “Nalaba mutabani wa Yese ng’agenda eri Akimereki mutabani wa Akitubu e Nobu. 10 (E)Akimereki yamubuuliza eri Mukama, era n’amuwa n’ebikozesebwa n’ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.”
11 Awo kabaka n’atumya kabona Akimereki mutabani wa Akitubu n’ennyumba ya kitaawe yonna, bakabona abaali e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka. 12 Sawulo n’ayogera nti, “Wuliriza kaakano, mutabani wa Akitubu.”
N’addamu nti, “Mpuliriza mukama wange.”
13 (F)Sawulo n’amubuuza nti, “Lwaki weekobaana ne mutabani wa Yese, n’omuwa emigaati n’ekitala, n’omubuuliza n’eri Katonda, alyoke, anteege angolokokereko, nga bw’akoze leero?”
14 (G)Awo Akimereki n’addamu kabaka nti, “Ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi, mukoddomi wa kabaka, omuduumizi wo ow’oku ntikko aduumira ekibinja ekikukuuma, era assibwamu ennyo ekitiibwa mu nnyumba yo? 15 Olowooza nti ku lunaku olwo gwe gwali omulundi ogusooka okumubuuliza eri Katonda? Nedda! Kabaka aleme okuvunaana omuweereza wo newaakubadde omuntu yenna ow’omu nnyumba ya kitange, kubanga omuweereza wo talina n’ekimu ky’amanyi ku nsonga eyo.”
16 Naye kabaka n’ayogera nti, “Mazima tooleme kufa, ggwe Akimereki, n’ennyumba ya kitaawo yonna.”
17 (H)Awo kabaka n’alagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.”
Naye ne wataba n’omu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba Mukama.
18 (I)Awo kabaka n’alyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu n’abakkako n’abatta, era olunaku olwo n’atta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eza bafuta. 19 (J)N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.