1 Kings 5
New Living Translation
Preparations for Building the Temple
5 [a]King Hiram of Tyre had always been a loyal friend of David. When Hiram learned that David’s son Solomon was the new king of Israel, he sent ambassadors to congratulate him.
2 Then Solomon sent this message back to Hiram:
3 “You know that my father, David, was not able to build a Temple to honor the name of the Lord his God because of the many wars waged against him by surrounding nations. He could not build until the Lord gave him victory over all his enemies. 4 But now the Lord my God has given me peace on every side; I have no enemies, and all is well. 5 So I am planning to build a Temple to honor the name of the Lord my God, just as he had instructed my father, David. For the Lord told him, ‘Your son, whom I will place on your throne, will build the Temple to honor my name.’
6 “Therefore, please command that cedars from Lebanon be cut for me. Let my men work alongside yours, and I will pay your men whatever wages you ask. As you know, there is no one among us who can cut timber like you Sidonians!”
7 When Hiram received Solomon’s message, he was very pleased and said, “Praise the Lord today for giving David a wise son to be king of the great nation of Israel.” 8 Then he sent this reply to Solomon:
“I have received your message, and I will supply all the cedar and cypress timber you need. 9 My servants will bring the logs from the Lebanon mountains to the Mediterranean Sea[b] and make them into rafts and float them along the coast to whatever place you choose. Then we will break the rafts apart so you can carry the logs away. You can pay me by supplying me with food for my household.”
10 So Hiram supplied as much cedar and cypress timber as Solomon desired. 11 In return, Solomon sent him an annual payment of 100,000 bushels[c] of wheat for his household and 110,000 gallons[d] of pure olive oil. 12 So the Lord gave wisdom to Solomon, just as he had promised. And Hiram and Solomon made a formal alliance of peace.
13 Then King Solomon conscripted a labor force of 30,000 men from all Israel. 14 He sent them to Lebanon in shifts, 10,000 every month, so that each man would be one month in Lebanon and two months at home. Adoniram was in charge of this labor force. 15 Solomon also had 70,000 common laborers, 80,000 quarry workers in the hill country, 16 and 3,600[e] foremen to supervise the work. 17 At the king’s command, they quarried large blocks of high-quality stone and shaped them to make the foundation of the Temple. 18 Men from the city of Gebal helped Solomon’s and Hiram’s builders prepare the timber and stone for the Temple.
Footnotes
- 5:1 Verses 5:1-18 are numbered 5:15-32 in Hebrew text.
- 5:9 Hebrew the sea.
- 5:11a Hebrew 20,000 cors [4,400 kiloliters].
- 5:11b As in Greek version, which reads 20,000 baths [420 kiloliters] (see also 2 Chr 2:10); Hebrew reads 20 cors, about 1,000 gallons or 4.4 kiloliters in volume.
- 5:16 As in some Greek manuscripts (see also 2 Chr 2:2, 18); Hebrew reads 3,300.
1 Bassekabaka 5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Enteekateeka y’Okuzimba Yeekaalu
5 (A)Awo Kiramu kabaka w’e Ttuulo bwe yawulira nga Sulemaani bamufuseeko amafuta okuba kabaka, ng’asikidde kitaawe Dawudi, n’atuma ababaka be eri Sulemaani, kubanga yali mukwano gwa Dawudi. 2 Sulemaani n’atumira Kiramu ng’ayogera nti,
3 (B)“Omanyi nti, Olw’entalo ennyingi ezeetooloola Dawudi kitange, teyasobola kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we yeekaalu, okutuusa Mukama lwe yamala okuteeka abalabe be wansi w’ebigere bye. 4 (C)Naye kaakano Mukama Katonda wange awadde Isirayiri yonna emirembe ku njuyi zonna, era tewakyali mulabe wadde akabi ak’engeri yonna. 5 (D)Era, laba, nsuubira okuzimbira Erinnya lya Mukama Katonda wange yeekaalu, nga Mukama bwe yagamba Dawudi kitange, bwe yayogera nti, ‘Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe ey’obwakabaka mu kifo kyo, yalizimbira Erinnya lyange yeekaalu.’
6 “Noolwekyo lagira basajja bo bantemere emivule gya Lebanooni. Abaddu bange banaakoleranga wamu n’abaddu bo, era nakuweerezanga empeera yonna, gy’olinsaba olw’abaddu bo. Omanyi nga ku ffe tekuli n’omu alina magezi kutema miti okwenkana ab’e Sidoni.”
7 Awo Kiramu bwe yawulira obubaka bwa Sulemaani, n’asanyuka nnyo era n’ayogera nti, “Mukama yeebazibwe, kubanga awadde Dawudi omwana ow’amagezi okufuga eggwanga lino eddene.”
8 Awo Kiramu n’atumira Sulemaani ng’ayogera nti,
“Obubaka bwe wampeereza mbufunye, era nnaakola by’oyagala byonna eby’emiti egy’emivule n’emiti egy’emiberosi. 9 (E)Basajja bange baligiggya mu Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja, era ndigisengeka ng’ebitindiro okuyita ku nnyanja okugituusa mu kifo ky’olindaga. Nga gituuse eyo ndiragira ne bagisumulula, ne gikuweebwa. Kye njagala okolere ab’omu nnyumba yange, kwe kubawanga emmere.”
10 Awo Kiramu n’awa Sulemaani emiti gy’emivule n’emiti egy’emiberosi nga bwe yayagala, 11 ne Sulemaani n’amuwanga ebigero by’eŋŋaano kilo enkumi nnya mu bina eby’emmere ey’ennyumba ye, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ebigero amakumi abiri, ze kilo nga bina mu ana buli mwaka. Kino Sulemaani yakikoleranga Kiramu buli mwaka. 12 (F)Mukama n’awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza. Ne waba emirembe wakati wa Kiramu ne Sulemaani, n’okulagaana ne balagaana endagaano bombi.
13 (G)Kabaka Sulemaani n’akuŋŋaanya abakozi mu Isirayiri yonna, ne bawera abasajja emitwalo esatu. 14 (H)N’abaweerezanga e Lebanooni mu mpalo; buli luwalo nga lumala omwezi gumu e Lebanooni n’emyezi ebiri ewaabwe, era Adoniraamu ye yabavunaanyizibwanga. 15 Sulemaani yalina abantu emitwalo musanvu abaasitulanga emigugu, n’emitwalo munaana abaatemanga amayinja ku nsozi, 16 (I)ate n’abaami be enkumi ssatu mu bisatu abaalabiriranga omulimu n’okulagirira abakozi. 17 (J)Kabaka n’alagira bateme amayinja amanene ddala nga bagaggya mu kirombe ky’amayinja ag’omuwendo, okuzimba emisingi gya yeekaalu n’amayinja amateme obulungi. 18 (K)Abaweesi ba Sulemaani n’aba Kiramu, wamu n’abasajja ba Gebali ne balongoosa n’okutegeka ne bategeka emiti n’amayinja eby’okuzimba yeekaalu.
Holy Bible, New Living Translation, copyright © 1996, 2004, 2015 by Tyndale House Foundation. Used by permission of Tyndale House Publishers, Inc., Carol Stream, Illinois 60188. All rights reserved.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.