Solomon’s Officials

Now King Solomon was king over all Israel. These were his officials: Azariah the son of Zadok was (A)the priest; Elihoreph and Ahijah, the sons of Shisha were scribes; (B)Jehoshaphat the son of Ahilud was the secretary; and (C)Benaiah the son of Jehoiada was over the army; and Zadok and (D)Abiathar were priests; and Azariah the son of Nathan was over (E)the deputies; and Zabud the son of Nathan, a priest, was the king’s confidant; and Ahishar was over the household; and Adoniram the son of Abda was over the forced labor.

Solomon had twelve deputies over all Israel, who provided food for the king and his household; each deputy had to provide food for a month in the year. And these were their names: Ben-hur, in the (F)hill country of Ephraim; Ben-deker in Makaz and (G)Shaalbim, and (H)Beth-shemesh, and Elonbeth-hanan; 10 Ben-hesed in Arubboth ((I)Socoh was his and all the land of (J)Hepher); 11 Ben-abinadab in all [a]the (K)hills of Dor (Taphath the daughter of Solomon was his wife); 12 Baana the son of Ahilud in (L)Taanach and Megiddo, and all (M)Beth-shean which is beside (N)Zarethan below Jezreel, from Beth-shean to (O)Abel-meholah as far as the other side of (P)Jokmeam; 13 Ben-geber in (Q)Ramoth-gilead ((R)the villages of Jair, the son of Manasseh, which are in Gilead were his: (S)the region of Argob, which is in Bashan, sixty great cities with walls and bronze bars were his); 14 Ahinadab the son of Iddo in (T)Mahanaim; 15 (U)Ahimaaz in Naphtali (he also married Basemath the daughter of Solomon); 16 Baana the son of (V)Hushai in Asher and [b]Bealoth; 17 Jehoshaphat the son of Paruah in Issachar; 18 (W)Shimei the son of Ela in Benjamin; 19 Geber the son of Uri in the land of Gilead, (X)the country of Sihon king of the Amorites and of Og king of Bashan; and he was the only deputy who was in the land.

Solomon’s Power, Wealth, and Wisdom

20 (Y)Judah and Israel were as numerous as the sand that is on the [c]seashore in abundance; they were eating, drinking, and rejoicing.

21 [d](Z)Now Solomon was ruling over all the kingdoms (AA)from the Euphrates River to the land of the Philistines and to the border of Egypt; (AB)they brought tribute and served Solomon all the days of his life.

22 Solomon’s [e]provision for one day was [f]thirty kors of fine flour and [g]sixty kors of meal, 23 ten fat oxen, twenty [h]pasture-fed oxen, and a hundred sheep, besides deer, gazelles, roebucks, and fattened geese. 24 For he was ruling over everything [i]west of the Euphrates River, from Tiphsah even to (AC)Gaza, (AD)over all the kings [j]west of the River; and (AE)he had peace on all sides surrounding him. 25 (AF)So Judah and Israel lived securely, everyone under his vine and his fig tree, (AG)from Dan even to Beersheba, all the days of Solomon. 26 (AH)Solomon had [k]forty thousand stalls of horses for his chariots, and twelve thousand horsemen. 27 And those deputies provided food for King Solomon and all who came to King Solomon’s table, each in his month; they allowed nothing to be lacking. 28 They also brought barley and straw for the war horses and (AI)baggage horses to the place where it was required, each deputy according to his duty.

29 Now (AJ)God gave Solomon wisdom and very great discernment and breadth of [l]mind, (AK)like the sand that is on the seashore. 30 Solomon’s wisdom surpassed the wisdom of all (AL)the [m]people of the east and (AM)all the wisdom of Egypt. 31 For (AN)he was wiser than all other people, more than (AO)Ethan the Ezrahite, Heman, (AP)Calcol, and [n]Darda, the sons of Mahol; and his [o]fame was known in all the surrounding nations. 32 (AQ)He also told three thousand proverbs, and his songs numbered 1,005. 33 He told of trees, from the cedar that is in Lebanon even to the hyssop that grows on the wall; he told also of animals, birds, crawling things, and fish. 34 People (AR)came from all the [p]nations to hear the wisdom of Solomon, from all the kings of the earth who had heard of his wisdom.

Footnotes

  1. 1 Kings 4:11 Or Naphoth-dor
  2. 1 Kings 4:16 Or in Aloth
  3. 1 Kings 4:20 Lit sea
  4. 1 Kings 4:21 Ch 5:1 in Heb
  5. 1 Kings 4:22 Lit bread
  6. 1 Kings 4:22 About 231 cubic feet or 6.5 cubic meters
  7. 1 Kings 4:22 About 462 cubic feet or 13 cubic meters
  8. 1 Kings 4:23 Lit oxen of the pasture
  9. 1 Kings 4:24 Lit beyond
  10. 1 Kings 4:24 Lit beyond
  11. 1 Kings 4:26 One LXX ms reads 4,000, cf. 2 Chr 9:25
  12. 1 Kings 4:29 Lit heart
  13. 1 Kings 4:30 Lit sons
  14. 1 Kings 4:31 In 1 Chr 2:6, Dara
  15. 1 Kings 4:31 Lit name
  16. 1 Kings 4:34 Lit peoples

Abakungu ba Sulemaani

Kabaka Sulemaani n’aba kabaka wa Isirayiri yonna.

(A)Era bano be baali abakungu be:

Azaliya[a] muzzukulu wa Zadooki, yali kabona,

(B)Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, baali bawandiisi,

Yekosafaati mutabani wa Akirudi, yali mujjukiza,

(C)Benaya mutabani wa Yekoyaada, yali muduumizi w’eggye omukulu,

Zadooki ne Abiyasaali baali bakabona,

Azaliya mutabani wa Nasani, yali mukulu w’abaami,

Zabudi mutabani wa Nasani, yali kabona ate nga ye muwi wa magezi wa kabaka omukulu,

Akisaali, yali ssabakaaki wa kabaka;

ne Adoniraamu mutabani wa Abuda, yali mukulu w’abaddu.

Sulemaani yalina abakungu kkumi na babiri abaakuliranga Isirayiri yonna, era baavunaanyizibwanga ebyokulya bya kabaka n’ab’omu nnyumba ye. Buli omu kyamugwaniranga okusolooza ebyokulya okumala omwezi gumu buli mwaka.

(D)Era gano ge mannya gaabwe:

Benikuli, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu;

(E)Benidekeri, mu Makazi, mu Saalubimu, mu Besusemesi, ne mu Eroni Besukanani;

10 (F)Benikesedi, mu Alubbosi, Soko n’ensi yonna ey’e Kefera yali yiye;

11 (G)Beniyabinadabu eyali awasizza Tafasi muwala wa Sulemaani, mu kifo kyonna ekigulumivu eky’e Doli;

12 (H)Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, ne mu Besuseyani yonna ekiriraanye Zalesani wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola okuyita ku Yokumyamu;

13 (I)Benigeberi, mu Lamosugireyaadi, ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase mu Gireyaadi byali bibye, era n’essaza Alugobu eriri mu Basani n’ebibuga byayo enkaaga ebyalina bbugwe ne wankaaki ow’ekikomo;

14 (J)Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu;

15 (K)Akimaazi eyali awasizza Basemesi muwala wa Sulemaani, mu Nafutaali,

16 (L)Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi;

17 Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali;

18 (M)Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini;

19 (N)Geberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza.

20 (O)Abantu ba Yuda ne Isirayiri baali bangi nga bali ng’omusenyu ku lubalama lw’ennyanja, era baalyanga, ne banywanga nga basanyuka. 21 (P)Sulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe[b].

22 Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri; 23 ente eza ssava kkumi, n’ente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu n’endiga kikumi, n’enjaza, n’empeewo, n’ennangaazi, n’enkoko ze baalondangamu. 24 (Q)Yafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa[c] okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola. 25 (R)Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini.

26 (S)Sulemaani yalina ebisibo by’embalaasi ezisika amagaali enkumi nnya, n’abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri.

27 (T)Abaami ba masaza, buli mwezi baalabiriranga Kabaka Sulemaani wamu n’abaatuulanga ku mmeeza ye, nga bamuweereza ebyokulya. 28 Era baaleetanga sayiri n’essubi olw’embalaasi ez’embiro n’embalaasi endala, buli muntu ng’omulimu gwe bwe gwali gwe yalagirwa.

Amagezi ga Sulemaani

29 (U)Katonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo n’obugunjufu bungi, ng’omusenyu oguli ku mabbali g’ennyanja. 30 (V)Amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okukira ag’abasajja bonna ab’ebuvanjuba[d], ate n’okusinga ago ag’e Misiri. 31 (W)Yali mugezi okukira abantu bonna, era n’okukira Esani Omwezulaki, ne Kemani, ne Kalukoli ne Daluda batabani ba Makoli, era erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde. 32 (X)Yagera engero enkumi ssatu, n’ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano. 33 Yayogera ku bulamu bwe bimera, okuva ku muvule gwa Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe. Ate era yayogera ne ku nsolo n’ennyonyi, n’ebyewalula n’ebyennyanja. 34 (Y)Era abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.

Footnotes

  1. 4:2 Azaliya yali mutabani wa Akimaazi, ate Akimaazi nga mutabani wa Zadooki (2Sa 15:27, 36 ne 1By 6:8-10). Noolwekyo Azaliya muzzukulu wa Zadooki. Mu kiseera ekyo Akimaazi yali amaze okufa. Azaliya ye yali Kabona Asinga Obukulu mu biro bya Sulemaani
  2. 4:21 Ensalo z’obwakabaka bwa Sulemaani zaakoma yonna Katonda gye yali asuubizza Ibulayimu (Lub 15:18-21; Ma 1:7; 11:24; Yos 1:4).
  3. 4:24 Tifusa kyali kibuga kikulu nga kisangibwa ku lubalama lw’Omugga Fulaati, nga kiri ku nsalo ey’omu bukiikakkono bw’obuvanjuba obw’obwakabaka. Gaaza ne Bufirisuuti okumpi n’ennyanja ya Meditereniyaani ye yali ensalo ey’omu bukiikaddyo bw’obuvanjuba obw’obwakabaka.
  4. 4:30 Ekitundu eky’Obuvanjuba kitegeeza amawanga g’Abawalabu abaabeeranga mu buvanjuba bwa Bufirisuuti