1 Bassekabaka 21:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Awo Yezeberi n’awandiika amabaluwa mu linnya lya Akabu, n’agassaako akabonero ke, era n’agaweereza eri abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga kya Nabosi.
Read full chapter
Eseza 3:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ne bayita abawandiisi ba Kabaka ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’olubereberye, ne bawandiika byonna nga Kamani bwe yalagira, ne bawandiikira abaamasaza ne bagavana ba buli kitundu, n’abakungu ba buli ggwanga; era n’eri buli kitundu ng’empandiika yaakyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali; byawandiikibwa mu linnya lya Kabaka Akaswero era ne biteekebwako akabonero n’empeta ya Kabaka.
Read full chapter
Eseza 8:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Noolwekyo muwandiike ekiwandiiko ekirala mu linnya lya Kabaka ku lw’Abayudaaya nga bwe musiima, era mukisseeko akabonero n’empeta ya Kabaka, kubanga tewali kiwandiiko ekiwandiikiddwa mu linnya lya Kabaka era ekiteekeddwako akabonero n’empeta ya Kabaka ekiyinza okujjululwa.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.