Add parallel Print Page Options

11 (A)Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.” 12 (B)Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.

Okumaliriza

13 (C)Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya ly’Omwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti mulina obulamu obutaggwaawo. 14 (D)Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira. 15 (E)Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.

Read full chapter