Add parallel Print Page Options

27 (A)Baasulanga okuliraana ne nnyumba ya Katonda kubanga be baagikuumanga, era nga buli nkya be bavunaanyizibwa okugiggalawo.

Read full chapter

12 (A)Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna. 13 (B)Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali.

14 (C)Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya.

Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi.

15 (D)Akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be.

16 Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa.

Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe.

17 Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku,

ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku

ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku,

ne ku ggwanika babiri babiri.

18 Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri.

19 (E)Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.

Read full chapter

Okuwakanya Okuzimba Bbugwe Kweyongera

(A)Awo Sanubalaati, ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n’abalabe baffe abalala bwe baawulira nga nzimbye bbugwe era nga tewali mabanga gaasigalamu, newaakubadde nga twali tetunateekamu nzigi mu miryango,

Read full chapter

Bbugwe Amalirizibwa

15 Bbugwe n’aggwa okukola ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano mu mwezi ogwa Eruli, mu nnaku amakumi ataano mu bbiri.

Read full chapter

25 (A)abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
    ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.

Read full chapter

(A)Naye Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi, n’Abaleevi abaali bayigiriza abantu, ne bagamba abantu bonna nti, “Olunaku lwa leero lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba.”

Read full chapter