Add parallel Print Page Options

Ebika Ebyava mu buwaŋŋanguse mu Babulooni

(A)Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.

Read full chapter

(A)Era mu kiseera kyekimu Sulemaani n’akuuma embaga eyo okumala ennaku musanvu, ne Isirayiri yenna wamu naye, n’ekibiina ekinene ennyo okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak’e Misiri. (B)Ku lunaku olw’omunaana ne bakuba olukuŋŋaana, kubanga baali bajjagulizza okuwongebwa kw’ekyoto ennaku musanvu, n’embaga ennaku endala musanvu. 10 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu olw’omwezi ogw’omusanvu, Kabaka Sulemaani n’asindika abantu baddeyo ewaabwe, era ne bagenda nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw’obulungi bwa Mukama bwe yalaga Dawudi ne Sulemaani n’abantu be Isirayiri.

Read full chapter