1 Ebyomumirembe 8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekika kya Benyamini
8 (A)Benyamini n’azaala Bera, era oyo ye yali omubereberye,
Asuberi nga ye wookubiri, Akala nga ye wookusatu;
2 Noka nga wakuna, ne Lafa nga ye wookutaano.
3 (B)Batabani ba Bera baali
Addali, ne Gera, ne Abikudi, 4 (C)ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa 5 ne Gera, ne Sefufani ne Kulamu.
6 (D)Bazzukulu ba Ekudi mutabani wa Gera baali bakulu b’enda z’abo abaabeeranga mu Geba nga baabatwala e Manakasi nga basibe era be bano:
7 Naamani, ne Akiya, ne Gera eyabakulembera nga bagenda mu buwaŋŋanguse, ate nga ye kitaawe wa Uzza ne Akikudi.
8 Sakalayimu n’azaala abaana abalala mu nsi y’e Mowaabu, ng’amaze okugoba abakyala be ababiri, Kusimu ne Baala. 9 Kodesi yamuzaalira Yokabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu, 10 ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma, era bano be baali abakulu b’enda za bajjajjaabwe. 11 Kusimu yamuzaalira Abitubu ne Erupaali.
12 (E)Batabani ba Erupaali baali
Eberi, ne Misamu, ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi n’ebibuga ebibyetoolodde, 13 (F)Beriya, ne Sema abakulu b’enda z’abo abaabeeranga e Ayalooni, era be baagoba abaabeeranga mu Gaasi.
14 Abaana abalala baali Akiyo, ne Sasaki, ne Yeremosi, 15 ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi 16 ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka,
17 ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi, 18 ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu.
19 Batabani ba Simeeyi baali Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi, 20 ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri, 21 ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi.
22 Batabani ba Sasaki baali Isupani, ne Eberi, ne Eryeri, 23 ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani, 24 ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya, 25 Sasaki ne Ifudeya ne Penueri.
26 Batabani ba Yerokamu baali Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya, 27 ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli.
28 Bano wammanga be baali abakulu b’enda, abaami, nga bwe bayogerwako mu nnyiriri zaabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.
29 (G)Yeyeri omukulembeze we Gibyoni yabeeranga Gibyoni,
ne mukyala we ye yali Maaka. 30 Mutabani we omuggulanda yali Abudoni, ne Zuuli n’amuddirira, ne Kiisi n’amuddako, ne Baali, ne Nadabu, 31 ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri 32 ne Mikuloosi n’azaala Simeeyi. Nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.
33 (H)Neeri n’azaala Kiisi, ne Kiisi n’azaala Sawulo, ne Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.
34 (I)Mutabani wa Yonasaani yali
Meribubaali, ye Mefibosesi, eyazaala Mikka.
35 Batabani ba Mikka baali
Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.
36 Akazi n’azaala Yekoyaada, Yekoyaada n’azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli, ne Zimuli n’azaala Moza. 37 Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lafa, ne Ereyaasa ne Azeri.
38 Azeri yazaala abaana aboobulenzi mukaaga, nga be ba
Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya ne Kanani.
39 Batabani ba muganda we Eseki baali
Ulamu omubereberye, ne Yewusi nga ye owookubiri ne Erifereti nga ye wookusatu. 40 (J)Batabani ba Ulamu baali basajja bazira era nga b’amaanyi, nga balasi ba busaale, nga n’abaana n’abazzukulu bangi ddala.
Bonna awamu baali kikumi mu ataano. Abo bonna baali bazzukulu ba Benyamini.
1 Krönikeboken 8
Swedish New Living Bible (Nya Levande Bibeln)
Benjamins ättlingar
1-2 Benjamins söner hette:Bela, den förstfödde, Asbel, den andre, Ahara, den tredje, Noha, den fjärde och Rafa, den femte.
3-5 Belas söner hette:Addar, Gera, Abihud, Abisua, Naaman, Ahoa, Gera, Sefufan och Huram.
6-7 Ehuds ättlingar, ledare för släkterna i Geba, tillfångatogs under kriget och de och deras familjer bortfördes till Manahat. De hette Naaman, Ahia och Gera. Gera var far till Ussa och Ahihud.
8-10 Saharaim skilde sig från sina hustrur Husim och Baara, men han fick söner i Moabs land med Hodes. De hette Jobab, Sibja, Mesa, Malkam, Jeus, Sakeja och Mirma, och blev huvudmän för sina släkter.
11 Husim hade tidigare fött Abitub och Elpaal åt honom.
12 Elpaals söner hette Eber, Miseam, Semed, (som byggde Ono och Lod med omgivande byar), och
13 Beria och Sema, huvudmän för dem som bodde i Ajalon. De hade jagat bort Gats invånare.
14-16 Berias söner hette:Ajo, Sasak, Jerimot, Sebadja, Arad, Eder, Mikael, Jispa och Joha.
17-18 Bland Elpaals ättlingar fanns också Sebadja, Mesullam, Hiski, Heber, Jismerai, Jislia och Jobab.
19-21 Simeis söner hette:Jakim, Sikri, Sabdi, Elienai, Silletai, Eliel, Adaja, Beraja och Simrat.
22-25 Sasaks söner hette:Jispan, Eber, Eliel, Abdon, Sikri, Hanan, Hananja, Elam, Antotja, Jifdeja och Peniel.
26-27 Jerohams söner hette:Samserai, Seharja, Atalja, Jaaresja, Elia och Sikri.
28 Alla dessa var huvudmän och ledare för släkter som bodde i Jerusalem.
29 Jeguel var ledare i Gibeon där han bodde.Hans hustru hette Maaka, och
30-32 hans äldste son Abdon. Han följdes av Sur, Kis, Baat, Nadab, Gedor, Ajo, Seker och Miklot, som var far till Simea. Alla dessa familjer bodde i närheten av Jerusalem.
33 Ner var far till Kis, och Kis var far till Saul. Bland Sauls söner fanns Jonatan, Malki-Sua, Abinadab och Esbaal.
34 Jonatan var far till Mefiboset som var far till Mika.
35 Mikas söner hette:Piton, Melek, Taarea och Ahas.
36 Ahas var far till Joadda, som var far till Alemet, Asmavet och Simri. Simris son hette Mosa.
37 Mosa var far till Binea, som var far till Rafa, som var far till Eleasa, som var far till Asel.
38 Asel hade sex söner:Asrikam, Bokeru, Ismael, Seraja, Obadja och Hanan.
39 Asels bror Esek hade tre söner:Ulam, den förstfödde, Jeus, den andre och Elifelet, den tredje.
40 Ulams söner var framstående krigare och skickliga bågskyttar. De hade 150 söner och sonsöner.Alla dessa var ättlingar till Benjamin.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Copyright © 1974, 1977, 1987, 1995, 2003, 2004 by Biblica