Add parallel Print Page Options

15 (A)Batabani ba Yosiya baali

Yokanaani omuggulanda,

ne Yekoyakimu ye yali owookubiri,

ne Zeddekiya nga wa wakusatu,

ne Sallumu nga wakuna.

Read full chapter

Yekoyakimu Kabaka wa Yuda

(A)Yekoyakimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we. (B)Awo lumu Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’amulumba, n’amusiba mu masamba, n’amutwala e Babulooni. (C)Nebukadduneeza n’atwala n’ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama e Babulooni, n’abiteeka mu ssabo lye. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekoyakimu, eby’ekivve bye yakola, ne byonna bye yavunaanibwa, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we n’amusikira.

Read full chapter

12 (A)Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”

Read full chapter

N’ekuza emu ku baana baayo
    n’efuuka empologoma ey’amaanyi,
n’eyiga okuyigga ebisolo,
    n’okulya abantu.
(A)Amawanga gaawulira ebimufaako,
    n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye,
ne bamusibamu amalobo
    ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri.

Read full chapter