Add parallel Print Page Options

26 (A)Kabaka n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Ggwe genda e Anasosi mu byalo byo. Osaanidde okufa, naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama mu maaso ga kitange Dawudi, era n’obonyaabonyezebwa wamu naye mu bibonoobono bye.” 27 (B)Awo Sulemaani n’agoba Abiyasaali[a] ku bwakabona bwa Mukama, okutuukiriza ekigambo Mukama kye yayogerera e Siiro ku nnyumba ya Eri.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:27 Abiyasaali ye yekka eyawona okuttibwa, enju ya Eri bwe yazikirizibwa (1Sa 22:17-20).

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Abakadde abasajja n’abakazi bajja kuddamu okutuula mu nguudo za Yerusaalemi, nga buli omu akutte omuggo, olw’obukadde.

Read full chapter