Add parallel Print Page Options

20 (A)Abayisirayiri bonna bwe baawulira nti Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumira ajje eri ekibiina, ne bamutikkira okuba kabaka wa Isirayiri yonna. Ekika kya Yuda kyokka kye kyasigala nga kigoberera ennyumba ya Dawudi.

21 (B)Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda yonna, n’ekika kya Benyamini, abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, okulwanagana n’ennyumba ya Isirayiri, asobole okweddiza obwakabaka.

22 (C)Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti,

Read full chapter