Add parallel Print Page Options

Abafirisuuti Bagaana Dawudi Okubeegattako mu Lutalo

29 (A)Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna e Afeki, n’Abayisirayiri ne basiisira ku luzzi oluli mu Yezuleeri. (B)Abakulembeze b’Abafirisuuti bwe baali nga bakumba n’ebibinja byabwe eby’ebikumi n’eby’enkumi, Dawudi n’abasajja be ne babagoberera nga babavaako emabega wamu ne Akisi. (C)Abaduumizi b’Abafirisuuti ne babuuza nti, “Ate bano Abaebbulaniya bakola ki wano?”

Akisi n’abaddamu nti, “Oyo ye Dawudi, omukungu wa Sawulo kabaka wa Isirayiri. Abadde nange okusukka mu mwaka, era okuva ku lunaku lwe yayabulira Sawulo n’okutuusa leero, sirabanga nsonga ku ye.” (D)Naye abaduumizi b’Abafirisuuti ne bamunyiigira ne bamugamba nti, “Sindika omusajja oyo addeyo mu kifo kye wamuwa. Tasaanye kugenda naffe mu lutalo, si kulwa nga atwefuukira wakati mu lutalo. Olowooza waliwo ekkubo eddala erisinga lino okumusobozesa okufuna okuganja eri mukama we bw’amutwalira emitwe gy’abasajja baffe? (E)Oyo si ye Dawudi gwe baayimbangako, nga bazina, nga boogera nti,

“ ‘Sawulo asse enkumi ze,
    ne Dawudi asse emitwalo gye?’ ”

(F)Awo Akisi n’ayita Dawudi n’amugamba nti, “Amazima ddala nga Mukama bw’ali omulamu, obadde mwesimbu era eyeesigibwa, era nandyagadde oweerereze wamu nange mu magye. Okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi n’okutuusa leero sirabanga bukyamu mu ggwe, naye abakulu tebakusiimye. Noolwekyo ddayo kaakano, ogende mirembe oleme okwemulugunyizisa abafuzi b’Abafirisuuti.”

Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Naye nkoze ki? Nsonga ki gy’olabye etali nnungi mu muweereza wo okuva ku lunaku lwe natandika okukuweereza n’okutuusa leero? Kiki ekindobera okugenda okulwanyisa abalabe ba mukama wange kabaka?”

(G)Akisi n’amuddamu nti, “Mmanyi nga tolina nsonga n’emu mu maaso gange nga malayika wa Katonda, naye abaduumizi b’Abafirisuuti bagambye nti, ‘Tosaana kugenda naffe mu lutalo.’ 10 (H)Kaakano obudde bwe bunaakya onoogolokoka ggwe wamu n’abasajja ba mukama wo, be wazze nabo, mugende ku makya obudde nga bwakalaba.”

11 Awo Dawudi ne basajja be ne bagolokoka ku makya nnyo ne baddayo mu nsi ey’Abafirisuuti, Abafirisuuti bo ne bambuka e Yezuleeri.

Achish Sends David Back to Ziklag

29 The Philistines gathered(A) all their forces at Aphek,(B) and Israel camped by the spring in Jezreel.(C) As the Philistine rulers marched with their units of hundreds and thousands, David and his men were marching at the rear(D) with Achish. The commanders of the Philistines asked, “What about these Hebrews?”

Achish replied, “Is this not David,(E) who was an officer of Saul king of Israel? He has already been with me for over a year,(F) and from the day he left Saul until now, I have found no fault in him.”

But the Philistine commanders were angry with Achish and said, “Send(G) the man back, that he may return to the place you assigned him. He must not go with us into battle, or he will turn(H) against us during the fighting. How better could he regain his master’s favor than by taking the heads of our own men? Isn’t this the David they sang about in their dances:

“‘Saul has slain his thousands,
    and David his tens of thousands’?”(I)

So Achish called David and said to him, “As surely as the Lord lives, you have been reliable, and I would be pleased to have you serve with me in the army. From the day(J) you came to me until today, I have found no fault in you, but the rulers(K) don’t approve of you. Now turn back and go in peace; do nothing to displease the Philistine rulers.”

“But what have I done?” asked David. “What have you found against your servant from the day I came to you until now? Why can’t I go and fight against the enemies of my lord the king?”

Achish answered, “I know that you have been as pleasing in my eyes as an angel(L) of God; nevertheless, the Philistine commanders(M) have said, ‘He must not go up with us into battle.’ 10 Now get up early, along with your master’s servants who have come with you, and leave(N) in the morning as soon as it is light.”

11 So David and his men got up early in the morning to go back to the land of the Philistines, and the Philistines went up to Jezreel.