Add parallel Print Page Options

Enteekateeka ya Dawudi ku bikwata ku Yeekaalu

28 (A)Dawudi n’akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ng’omwo mwe muli abakulu b’ebika, n’abakulu b’ebitongole abaaweerezanga kabaka, n’abaduumizi ab’olukumi, n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga eby’obugagga n’amagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, n’abakungu ab’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi era n’abasajja bonna abazira.

(B)Awo kabaka Dawudi n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’entebe ey’ebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa. (C)Naye Katonda n’aŋŋamba nti, ‘Tolinzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.’

(D)“Naye ate Mukama Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda n’alondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange n’asiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna. (E)Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gw’alonze okutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri. (F)Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alizimba ennyumba yange n’empya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange n’abeeranga kitaawe. (G)Ndinyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna, bwatalirekayo okugondera ebiragiro byange n’amateeka gange nga bwe bigobelerwa mu nnaku zino.’

(H)“Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng’awulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya Mukama Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (n’abazzukulu) n’abaana ab’obusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna.

(I)“Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima gumu n’emmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okw’ebirowoozo. Bw’onoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bw’onoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna. 10 Kaakano weekuume, kubanga Mukama akulonze okuzimba ennyumba ey’okusinzizangamu. Ba n’amaanyi, okole omulimu.”

11 (J)Awo Dawudi n’akwasa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky’ekisasi kya yeekaalu, n’ebizimbe byabyo, n’amawanika gaayo, n’ebisenge ebya waggulu, n’ebisenge eby’omunda, n’ekifo eky’entebe ey’okusaasira. 12 (K)Yamuwa n’enteekateeka ya buli kintu nga eky’empya za yeekaalu ya Mukama, n’ebisenge, ebyali bigiriranye, n’amawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebintu byonna ebyawongebwa, ng’Omwoyo bwe yali agitadde ku mutima gwe. 13 (L)Yamuwa n’ebiragiro eby’okugobereranga ku bibinja bya bakabona, n’Abaleevi, n’olw’omulimu gwonna ogw’okuweerezanga mu yeekaalu ya Mukama, n’olw’ebintu byonna ebyakozesebwanga mu kuweereza mu nnyumba ya Mukama. 14 Yawaayo ebipimo ebya zaabu olw’ebintu byonna ebya zaabu ebyasabwanga buli mulundi, n’ebipimo ebya ffeeza olw’ebintu byonna ebya ffeeza ebyakozesebwanga buli mulundi; 15 (M)n’ebipimo eby’ettabaaza eza zaabu, n’ettabaaza zaakwo, n’ebipimo ebya zaabu ebya buli kikondo n’ettabaaza yaakyo, n’ebipimo ebya buli kikondo ekya ffeeza n’ettabaaza yaakyo; 16 (N)n’ebipimo ebya zaabu eby’emmeeza ez’emigaati emitukuze egy’okulaga, n’ebipimo ebya ffeeza eby’emmeeza eza ffeeza; 17 (O)n’ebipimo ebya zaabu ennongoose eya wuuma, n’ebbakuli ezimasamasa, n’ekikopo, n’ebipimo ebya zaabu eby’ebbakuli eza zaabu, n’ebipimo ebya ffeeza eby’ebbakuli eza ffeeza; 18 (P)n’ebipimo ebya zaabu ennongoose ey’ekyoto eky’obubaane. N’amuwa n’enteekateeka ey’eggaali, be bakerubi aba zaabu abanjala ebiwaawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey’endagaano ya Mukama.

19 (Q)Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ebyo byonna biri mu buwandiike, kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu nange, era yampa okukitegeerera ddala.”

20 (R)Dawudi n’ayongera n’agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n’amaanyi era guma omwoyo, okole omulimu. Totya so totekemuka wadde okuggwamu omwoyo, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange ali wamu naawe. Taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw’okuweereza ogwa yeekaalu ye Mukama nga guwedde. 21 (S)Era, laba, ebibiina bya bakabona n’Abaleevi beeteefuteefu okukola omulimu ku yeekaalu ya Katonda, na buli musajja omumanyirivu mu kuweesa okw’engeri zonna anaakuyamba mu mulimu gwonna. Era n’abakungu wamu n’abantu bonna banaagonderanga buli kiragiro kyo.”

David’s Plans for the Temple

28 David summoned(A) all the officials(B) of Israel to assemble at Jerusalem: the officers over the tribes, the commanders of the divisions in the service of the king, the commanders of thousands and commanders of hundreds, and the officials in charge of all the property and livestock belonging to the king and his sons, together with the palace officials, the warriors and all the brave fighting men.

King David rose to his feet and said: “Listen to me, my fellow Israelites, my people. I had it in my heart(C) to build a house as a place of rest(D) for the ark of the covenant of the Lord, for the footstool(E) of our God, and I made plans to build it.(F) But God said to me,(G) ‘You are not to build a house for my Name,(H) because you are a warrior and have shed blood.’(I)

“Yet the Lord, the God of Israel, chose me(J) from my whole family(K) to be king over Israel forever. He chose Judah(L) as leader, and from the tribe of Judah he chose my family, and from my father’s sons he was pleased to make me king over all Israel.(M) Of all my sons—and the Lord has given me many(N)—he has chosen my son Solomon(O) to sit on the throne(P) of the kingdom of the Lord over Israel. He said to me: ‘Solomon your son is the one who will build(Q) my house and my courts, for I have chosen him to be my son,(R) and I will be his father. I will establish his kingdom forever if he is unswerving in carrying out my commands and laws,(S) as is being done at this time.’

“So now I charge you in the sight of all Israel(T) and of the assembly of the Lord, and in the hearing of our God: Be careful to follow all the commands(U) of the Lord your God, that you may possess this good land and pass it on as an inheritance to your descendants forever.(V)

“And you, my son Solomon, acknowledge the God of your father, and serve him with wholehearted devotion(W) and with a willing mind, for the Lord searches every heart(X) and understands every desire and every thought. If you seek him,(Y) he will be found by you; but if you forsake(Z) him, he will reject(AA) you forever. 10 Consider now, for the Lord has chosen you to build a house as the sanctuary. Be strong and do the work.”

11 Then David gave his son Solomon the plans(AB) for the portico of the temple, its buildings, its storerooms, its upper parts, its inner rooms and the place of atonement. 12 He gave him the plans of all that the Spirit(AC) had put in his mind for the courts of the temple of the Lord and all the surrounding rooms, for the treasuries of the temple of God and for the treasuries for the dedicated things.(AD) 13 He gave him instructions for the divisions(AE) of the priests and Levites, and for all the work of serving in the temple of the Lord, as well as for all the articles to be used in its service. 14 He designated the weight of gold for all the gold articles to be used in various kinds of service, and the weight of silver for all the silver articles to be used in various kinds of service: 15 the weight of gold for the gold lampstands(AF) and their lamps, with the weight for each lampstand and its lamps; and the weight of silver for each silver lampstand and its lamps, according to the use of each lampstand; 16 the weight of gold for each table(AG) for consecrated bread; the weight of silver for the silver tables; 17 the weight of pure gold for the forks, sprinkling bowls(AH) and pitchers; the weight of gold for each gold dish; the weight of silver for each silver dish; 18 and the weight of the refined gold for the altar of incense.(AI) He also gave him the plan for the chariot,(AJ) that is, the cherubim of gold that spread their wings and overshadow(AK) the ark of the covenant of the Lord.

19 “All this,” David said, “I have in writing as a result of the Lord’s hand on me, and he enabled me to understand all the details(AL) of the plan.(AM)

20 David also said to Solomon his son, “Be strong and courageous,(AN) and do the work. Do not be afraid or discouraged, for the Lord God, my God, is with you. He will not fail you or forsake(AO) you until all the work for the service of the temple of the Lord is finished.(AP) 21 The divisions of the priests and Levites are ready for all the work on the temple of God, and every willing person skilled(AQ) in any craft will help you in all the work. The officials and all the people will obey your every command.”