Add parallel Print Page Options

26 Yerobowaamu ne yeerowooza munda ye nti, “Obwakabaka sikulwa nga budda mu nnyumba ya Dawudi! 27 (A)Abantu bano bwe banayambukanga okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi, olunaku olumu emitima gyabwe giyinza okukyukira mukama waabwe, Lekobowaamu, kabaka wa Yuda. Balinzita ne badda gy’ali.”

28 (B)Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.” 29 (C)Emu n’agiteeka mu Beseri n’endala mu Ddaani. 30 (D)Ekintu ekyo ne kiba kibi nnyo, kubanga abantu baatuuka n’okugenda e Ddaani okusinza ekifaananyi ky’ennyana ekyali kiteekeddwa eyo.

31 (E)Yerobowaamu n’azimba amasabo mu bifo ebigulumivu n’alonda bakabona[a] ng’abaggya mu bantu abaabulijjo, newaakubadde nga tebaali ba kika kya Leevi. 32 (F)N’akola embaga ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana, okufaanana n’embaga ebeerawo mu Yuda, era n’awaayo ebyokebwa ku kyoto. Kino yakikola mu Beseri ng’awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola. N’assa bakabona mu bifo ebigulumivu bye yali akoze e Beseri. 33 (G)Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana gwe yeerondera, n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kye yazimba e Beseri. Era n’assaawo embaga Abayisirayiri gye baakuumanga, n’ayambukanga ne ku kyoto okuwaayo ebyokebwa.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:31 Yerobowaamu yalonda bakabona abataali ba kika kya Leevi, kubanga Abaleevi abasinga obungi baali baddukidde eri Lekobowaamu (2By 11:13-17)

26 Jeroboam thought to himself, “The kingdom will now likely revert to the house of David. 27 If these people go up to offer sacrifices at the temple of the Lord in Jerusalem,(A) they will again give their allegiance to their lord, Rehoboam king of Judah. They will kill me and return to King Rehoboam.”

28 After seeking advice, the king made two golden calves.(B) He said to the people, “It is too much for you to go up to Jerusalem. Here are your gods, Israel, who brought you up out of Egypt.”(C) 29 One he set up in Bethel,(D) and the other in Dan.(E) 30 And this thing became a sin;(F) the people came to worship the one at Bethel and went as far as Dan to worship the other.[a]

31 Jeroboam built shrines(G) on high places and appointed priests(H) from all sorts of people, even though they were not Levites. 32 He instituted a festival on the fifteenth day of the eighth(I) month, like the festival held in Judah, and offered sacrifices on the altar. This he did in Bethel,(J) sacrificing to the calves he had made. And at Bethel he also installed priests at the high places he had made. 33 On the fifteenth day of the eighth month, a month of his own choosing, he offered sacrifices on the altar he had built at Bethel.(K) So he instituted the festival for the Israelites and went up to the altar to make offerings.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1 Kings 12:30 Probable reading of the original Hebrew text; Masoretic Text people went to the one as far as Dan