Add parallel Print Page Options

不要重富轻贫

我的弟兄们,你们信奉我们荣耀的主耶稣基督,便不可按着外貌待人。 若有一个人戴着金戒指、穿着华美衣服进你们的会堂去,又有一个穷人穿着肮脏衣服也进去, 你们就看重那穿华美衣服的人,说“请坐在这好位上”,又对那穷人说“你站在那里”或“坐在我脚凳下边”, 这岂不是你们偏心待人,用恶意断定人吗? 我亲爱的弟兄们,请听:神岂不是拣选了世上的贫穷人,叫他们在信上富足,并承受他所应许给那些爱他之人的国吗? 你们反倒羞辱贫穷人!那富足人岂不是欺压你们,拉你们到公堂去吗? 他们不是亵渎你们所敬奉[a]的尊名吗? 经上记着说:“要爱人如己。”

当遵守全律法

你们若全守这至尊的律法,才是好的。 但你们若按外貌待人,便是犯罪,被律法定为犯法的。 10 因为凡遵守全律法的,只在一条上跌倒,他就是犯了众条。 11 原来那说“不可奸淫”的,也说“不可杀人”。你就是不奸淫,却杀人,仍是成了犯律法的。 12 你们既然要按使人自由的律法受审判,就该照这律法说话行事。 13 因为那不怜悯人的,也要受无怜悯的审判;怜悯原是向审判夸胜。

信无善行乃是死的

14 我的弟兄们,若有人说自己有信心,却没有行为,有什么益处呢?这信心能救他吗? 15 若是弟兄或是姐妹赤身露体,又缺了日用的饮食, 16 你们中间有人对他们说“平平安安地去吧,愿你们穿得暖、吃得饱”,却不给他们身体所需用的,这有什么益处呢? 17 这样,信心若没有行为就是死的。 18 必有人说:“你有信心,我有行为。”你将你没有行为的信心指给我看,我便借着我的行为,将我的信心指给你看。 19 你信神只有一位,你信的不错!鬼魔也信,却是战惊。 20 虚浮的人哪,你愿意知道没有行为的信心是死的吗?

亚伯拉罕称义是因行为不是单因信

21 我们的祖宗亚伯拉罕把他儿子以撒献在坛上,岂不是因行为称义吗? 22 可见信心是与他的行为并行,而且信心因着行为才得成全。 23 这就应验经上所说“亚伯拉罕信神,这就算为他的义”,他又得称为神的朋友。 24 这样看来,人称义是因着行为,不是单因着信。 25 妓女喇合接待使者,又放他们从别的路上出去,不也是一样因行为称义吗? 26 身体没有灵魂是死的,信心没有行为也是死的。

Footnotes

  1. 雅各书 2:7 “所敬奉”或作“被称”。

Obutabaamu kyekubiira

(A)Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama ow’ekitiibwa, temusosolanga mu bantu. Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ng’ayambadde engoye ez’omuwendo omunene, ng’anaanise n’empeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo n’omusajja omwavu ng’ali mu ngoye ezisensusesensuse, ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi w’akatebe kwe nteeka ebigere byange,” (B)kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi?

(C)Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala? (D)Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga z’amateeka? Era si be banyoomoola erinnya eddungi lye muyitibwa?

(E)Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” (F)Naye bwe musosola mu bantu muba mukoze kibi, n’etteeka libasingisa omusango ng’aboonoonyi. 10 (G)Era omuntu akwata amateeka gonna, naye n’asobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri y’emu ng’oli asobezza amateeka gonna. 11 (H)Kubanga Katonda eyagamba nti, “Toyendanga,” era y’omu eyagamba nti, “Tottanga.” Noolwekyo singa toyenda, naye n’otta oba mumenyi wa mateeka gonna.

12 (I)Noolwekyo mwogere era mukole ng’amateeka ag’eddembe bwe gali naye nga mumanyi nti tunaatera okulamulwa. 13 (J)Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.

Okukkiriza n’ebikolwa ebirungi

14 (K)Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola? 15 (L)Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, 16 (M)naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? 17 Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.

18 (N)Naye omuntu ayinza okugamba nti, “Ggwe olina okukkiriza nange nnina ebikolwa; ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage ebikolwa byange nga bwe bikakasa okukkiriza kwange.” 19 (O)Okukkiriza obukkiriza nti waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza n’okukankana ne bakankana!

20 (P)Musirusiru ggwe! Oliyiga ddi ng’okukkiriza okutaliiko bikolwa tekuliiko kye kugasa? 21 (Q)Jjajjaffe Ibulayimu teyaweebwa obutuukirivu olw’ekikolwa kye yakola, bwe yawaayo omwana we lsaaka, afiire ku kyoto? 22 (R)Mulaba nga Ibulayimu bwe yalina okukkiriza, era okukkiriza kwe ne kutuukirizibwa olw’ebikolwa bye, 23 (S)n’ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti, “Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, era n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.” 24 Kaakano mutegedde ng’omuntu asiimibwa Katonda olw’ebyo by’akola, so si lwa kukkiriza kyokka.

25 (T)Ekyokulabirako ekirala kye kya Lakabu, eyali malaaya. Teyaweebwa butuukirivu lwa kikolwa eky’okusembeza ababaka, n’oluvannyuma n’abasiibulira mu kkubo eddala nga baddayo, okubawonya? 26 (U)Ng’omubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, n’okukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.