腓立比书 4
Chinese New Version (Traditional)
4 我所想念親愛的弟兄們,你們就是我的喜樂、我的冠冕。所以,親愛的,你們應當靠著主站立得穩。
勸勉
2 我勸友阿嫡,也勸循都基,要在主裡有同樣的思想。 3 我真誠的同道啊,我也求你幫助她們。這兩個女人,還有革利免和其餘的同工,都跟我在福音的事工上一同勞苦,他們的名字都在生命冊上。
4 你們要靠著主常常喜樂,我再說,你們要喜樂。 5 要使大家看出你們謙和的心。主已經近了。 6 應當毫無憂慮,只要凡事藉著禱告祈求,帶著感恩的心,把你們所要的告訴 神。 7 這樣, 神所賜超過人能了解的平安,必在基督耶穌裡,保守你們的心思意念。
8 最後,弟兄們,凡是真實的、莊重的、公正的、純潔的、可愛的、聲譽好的,無論是甚麼美德,甚麼稱讚,這些事你們都應當思念。 9 你們在我身上所學習、所領受、所聽見、所看見的,這些事你們都應當實行;那麼,賜平安的 神就必與你們同在。
凡事知足的祕訣
10 我在主裡大大地喜樂,因為你們現在又再想起我來;其實你們一向都在想念我,只是沒有機會表示。 11 我並不是因為缺乏才這樣說:我已經學會了,無論在甚麼情況之下都可以知足。 12 我知道怎樣處卑賤,也知道怎樣處富裕;我已經得了祕訣,無論在任何情況之下,或是飽足,或是飢餓,或是富裕,或是缺乏,都可以知足。 13 我靠著那加給我能力的,凡事都能作。 14 然而,你們一同分擔了我的患難,實在是好的。
腓立比信徒的餽送
15 腓立比的弟兄們,你們也知道,在我傳福音的初期,離開馬其頓的時候,除了你們以外,我沒有收過任何教會的供給。 16 我在帖撒羅尼迦的時候,你們還是一而再把我所需用的送來。 17 我並不求禮物,只求你們的果子不斷增加,歸在你們的帳上。 18 你們所送的我都全數收到了,而且綽綽有餘;我已經足夠了,因我從以巴弗提收到你們所送的,好像馨香之氣,是 神所接納所喜悅的祭物。 19 我的 神必照他在基督耶穌裡榮耀的豐富,滿足你們的一切需要。 20 願榮耀歸給我們的父 神,直到永遠。阿們。
問候與祝福
21 問候在基督耶穌裡的各位聖徒。同我在一起的弟兄們問候你們。 22 眾聖徒,特別是凱撒家裡的人,都問候你們。 23 願主耶穌基督的恩惠與你們同在(“與你們同在”原文作“與你們的心靈同在”)。
Abafiripi 4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuyigiriza
4 (A)Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.
2 (B)Ewudiya ne Sintuke mbeegayirira mukkiriziganye mu Mukama waffe. 3 Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw’okubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.
4 (C)Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga. 5 (D)Era mubeere n’okuzibiikiriza eri abantu bonna. Mukama waffe, ali kumpi. 6 (E)Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. 7 (F)N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.
8 Eky’enkomerero, abooluganda, mulowoozenga ku buli kya mazima, na buli ekisiimibwa na buli kya butuukirivu, na buli kirongoofu, na buli kyagalibwa, na buli kyogerwako obulungi, era bwe wabangawo ekirungi oba bwe wabangawo ettendo, ebyo mubirowoozengako. 9 (G)Ebyo bye mwayiga, n’ebyo bye mwafuna ne muwulira, ebyo mubirowoozengako.
Okwebaza
10 (H)Nasanyuka nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw’ebbanga muzzeemu okundowoozaako buggya, kubanga mwali munzisaako nnyo omwoyo, naye temwalina mukisa ku kiraga. 11 (I)Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga. 12 (J)Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu. 13 (K)Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.
14 (L)Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange. 15 (M)Mmwe, Abafiripi, mumanyi nti bwe nava e Makedoniya nga nakatandika okubuulira Enjiri, tewali Kkanisa n’emu eyampaayo akantu olw’ebyo bye yafuna okuggyako mmwe mwekka. 16 (N)Kubanga ddala ddala bwe nnali mu Sessaloniika mwampeereza emirundi ebiri. 17 (O)Soogera kino lwa kubanga njagala okufuna ekirabo, wabula kye njagala kwe kulaba ng’ekibala kyeyongera ku lwammwe. 18 (P)Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, kino kisinzidde mu ebyo bye mwampeereza, Epafuladito bye yandeetera. Biri ng’akaloosa akalungi ennyo aka ssaddaaka esanyusa era esiimibwa Katonda. 19 (Q)Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.
20 (R)Katonda Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
21 (S)Munnamusize buli mutukuvu mu Kristo Yesu; era n’abooluganda abali wano nange babalamusizza.
22 (T)Era n’abatukuvu bonna babatumidde, naye okusingira ddala abo abali mu lubiri lwa Kayisaali.
23 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
Amiina.
Philippians 4
King James Version
4 Therefore, my brethren dearly beloved and longed for, my joy and crown, so stand fast in the Lord, my dearly beloved.
2 I beseech Euodias, and beseech Syntyche, that they be of the same mind in the Lord.
3 And I intreat thee also, true yokefellow, help those women which laboured with me in the gospel, with Clement also, and with other my fellowlabourers, whose names are in the book of life.
4 Rejoice in the Lord always: and again I say, Rejoice.
5 Let your moderation be known unto all men. The Lord is at hand.
6 Be careful for nothing; but in every thing by prayer and supplication with thanksgiving let your requests be made known unto God.
7 And the peace of God, which passeth all understanding, shall keep your hearts and minds through Christ Jesus.
8 Finally, brethren, whatsoever things are true, whatsoever things are honest, whatsoever things are just, whatsoever things are pure, whatsoever things are lovely, whatsoever things are of good report; if there be any virtue, and if there be any praise, think on these things.
9 Those things, which ye have both learned, and received, and heard, and seen in me, do: and the God of peace shall be with you.
10 But I rejoiced in the Lord greatly, that now at the last your care of me hath flourished again; wherein ye were also careful, but ye lacked opportunity.
11 Not that I speak in respect of want: for I have learned, in whatsoever state I am, therewith to be content.
12 I know both how to be abased, and I know how to abound: every where and in all things I am instructed both to be full and to be hungry, both to abound and to suffer need.
13 I can do all things through Christ which strengtheneth me.
14 Notwithstanding ye have well done, that ye did communicate with my affliction.
15 Now ye Philippians know also, that in the beginning of the gospel, when I departed from Macedonia, no church communicated with me as concerning giving and receiving, but ye only.
16 For even in Thessalonica ye sent once and again unto my necessity.
17 Not because I desire a gift: but I desire fruit that may abound to your account.
18 But I have all, and abound: I am full, having received of Epaphroditus the things which were sent from you, an odour of a sweet smell, a sacrifice acceptable, wellpleasing to God.
19 But my God shall supply all your need according to his riches in glory by Christ Jesus.
20 Now unto God and our Father be glory for ever and ever. Amen.
21 Salute every saint in Christ Jesus. The brethren which are with me greet you.
22 All the saints salute you, chiefly they that are of Caesar's household.
23 The grace of our Lord Jesus Christ be with you all. Amen.
Chinese New Version (CNV). Copyright © 1976, 1992, 1999, 2001, 2005 by Worldwide Bible Society.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
