Abaruumi 3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obwesigwa bwa Katonda
3 Kaakano olwo Omuyudaaya alina nkizo ki? Oba okukomolebwa kugasa ki? 2 (A)Kugasa nnyo mu ngeri nnyingi. Okusookera ddala, Abayudaaya be baateresebwa ebigambo bya Katonda.
3 (B)Kituufu nti abamu ku bo tebakkiriza bigambo ebyo. Obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda, olw’okuba nga bo tebaalina kukkiriza? 4 (C)Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti,
“Olyoke otuukirire mu bigambo byo,
era osinge bw’osala omusango.”
5 (D)Naye obanga obutali butuukirivu bwaffe bulagira ddala obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera ki? Kikyamu Katonda okutunyiigira era n’atubonereza? Mu kino njogera ng’omuntu. 6 (E)Nedda, sikikyamu. Katonda alisalira atya ensi omusango? 7 (F)Naye obanga obulimba bwammwe bweyongera okugulumiza Katonda, nga kiraga Katonda bw’ali ow’amazima, oyinza okwebuuza lwaki okyasalirwa omusango ng’omwonoonyi? 8 (G)Era okyayinza okwongerako na kino nti tukolenga ebibi mulyoke muveemu ebirungi, ng’abamu bwe batuwaayiriza nti, bwe tugamba. Kyokka Katonda mwenkanya, era alibasalira nga bwe kibagwanira.
Tewali mutuukirivu n’omu
9 (H)Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga. 10 Ng’ebyawandiikibwa bwe bigamba nti:
“Tewali mutuukirivu n’omu.
11 Tewali ategeera
wadde anoonya Katonda.
12 (I)Bonna baakyama,
bonna awamu baafuuka kitagasa;
tewali n’omu akola obulungi,
tewali n’omu.”
13 (J)“Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde,
n’emimwa gyabwe gijjudde obulimba.”
“Buli kigambo ekibavaamu kiri ng’obusagwa bw’omusota.”
14 (K)“Emimwa gyabwe gijjudde okukolima n’obukyayi.”
15 “Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi,
16 buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.
17 Tebamanyi kkubo lya mirembe.”
18 (L)“N’okutya tebatya Katonda.”
19 (M)Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lw’abo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ng’ensi yonna bwe yasobya. 20 (N)Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olw’ebikolwa by’amateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.
Obutuukirivu buva mu Kukkiriza
21 (O)Kale kaakano tutegeere ng’obutuukirivu bwa Katonda tebutuweebwa lwa kugondera Mateeka. Ekyo kikakasibwa Amateeka ne bannabbi. 22 (P)Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olw’okukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola. 23 Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda. 24 (Q)Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo; 25 (R)Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olw’omusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri eby’edda. 26 Kino kiraga Katonda bw’alaga okwaniriza kw’alina eri abantu mu biro bino, bwe baba n’okukkiriza mu Yesu.
27 (S)Kale lwaki twenyumiriza? Tewali nsonga etwenyumirizisa. Lwa kuba nga twagoberera amateeka? Nedda, lwa kukkiriza. 28 (T)Noolwekyo omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kugoberera mateeka. 29 (U)Oba Katonda wa Bayudaaya bokka? Si ye Katonda w’amawanga amalala gonna? Weewaawo nabo Katonda waabwe. 30 (V)Kubanga ye Katonda omu awa obutuukirivu abaakomolebwa, n’abo abataakomolebwa olw’okukkiriza kwabwe. 31 Kale amateeka tugaggyewo olw’okukkiriza? Kikafuuwe. Tunyweza manyweze.
羅馬書 3
Chinese Contemporary Bible (Traditional)
3 那麼,猶太人有什麼長處呢?割禮有什麼價值呢? 2 其實益處非常多!首先,上帝的聖言託付給了猶太人。 3 雖然有些人不相信,但那有什麼關係呢?難道上帝的信實可靠會因他們的不信而化為無有嗎? 4 當然不會!縱然人人都撒謊,上帝仍然真實可靠。正如聖經上說:
「你的判語證明你是公義的;
你雖被人控告,卻終必得勝。」
5 我姑且用人的觀點說:「如果我們的不義可以反襯出上帝的公義,我們該做何論?上帝向我們發怒是祂不公正嗎?」 6 當然不是!若是這樣,上帝怎麼能審判這世界呢? 7 你們又說:「如果我們的虛謊凸顯出上帝的真實,增加祂的榮耀,為什麼祂還要把我們當作罪人審判呢?」 8 為什麼你們不乾脆說:「我們作惡吧,好成就善事」?有人毀謗我們,說我們傳這種道理。這些人受審判是罪有應得!
沒有義人
9 那麼,我們猶太人比別人優越嗎?絕對不是!我們已經說過,無論是猶太人還是希臘人,所有的人都身陷罪中。 10 正如聖經上說:
「沒有義人,一個也沒有,
11 沒有人明白,沒有人尋求上帝。
12 人人偏離正路,變得毫無價值。
沒有人行善,一個也沒有。
13 他們的喉嚨是敞開的墳墓,
舌頭上盡是詭詐,
嘴唇有蛇的毒液,
14 滿口咒詛,言語惡毒;
15 殺人流血,腳步飛快;
16 所到之處,大肆毀滅;
17 平安之路,他們未曾知道;
18 他們眼中毫無對上帝的畏懼。」
19 我們知道律法所講的都是針對律法之下的人,好叫所有的人都無話可說,使全世界都伏在上帝的審判之下。 20 因為無人能夠靠遵行律法而被上帝視為義人,律法的本意是要使人知罪。
因信稱義
21 但如今,上帝的義在律法以外顯明出來,有律法和眾先知做見證。 22 人只要信耶穌基督,就可以被上帝稱為義人,沒有一個人例外。 23 因為世人都犯了罪,虧欠上帝的榮耀, 24 但蒙上帝的恩典,靠著基督耶穌的救贖,世人被無條件地稱為義人。 25 上帝使基督耶穌成為贖罪祭,以便人藉著相信耶穌的寶血可以得到赦免。這是為了顯明上帝的義,因為祂用忍耐的心寬容人過去的罪, 26 好在現今顯明祂的義,使人知道祂是公義的,祂也稱信耶穌的為義人。
27 既然如此,我們哪裡能誇口呢?當然沒有可誇的。靠什麼方法讓人不能誇口呢?靠遵守律法嗎?不是!是靠信主的方法。 28 因為我們堅信人被稱為義人是藉著信,不是靠遵行律法。 29 難道上帝只是猶太人的上帝嗎?祂不也是外族人的上帝嗎?祂當然也是外族人的上帝。 30 因為上帝只有一位,祂本著信稱受割禮的人為義人,也本著信稱未受割禮的人為義人。 31 這麼說來,我們是藉著信心廢掉上帝的律法嗎?當然不是!我們反倒是鞏固律法。
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.