約書亞記 24
Chinese Contemporary Bible (Traditional)
重申耶和華的約
24 約書亞在示劍招聚以色列各支派,然後召來以色列的長老、族長、審判官和官長。他們一同站在上帝面前。 2 約書亞對全體民眾說:「以色列的上帝耶和華這樣說,『從前你們的祖先,包括亞伯拉罕和拿鶴二人的父親他拉,住在幼發拉底河那邊拜別的神明。 3 我把你們的祖先亞伯拉罕從幼發拉底河那邊帶出來,領他走遍迦南,使他人丁興旺。我把以撒賜給他, 4 把雅各和以掃賜給以撒,把西珥山賜給以掃作產業,雅各和他的子孫則去了埃及。 5 後來,我差遣摩西和亞倫去埃及,並用瘟疫攻擊埃及人,把你們領出來。 6 我引領你們的祖先離開埃及來到紅海的時候,埃及人帶領戰車騎兵追了上來。 7 你們的祖先大聲呼求我,我就降下黑暗,把你們和埃及人分開,又用海水淹沒埃及人。你們親眼見過我在埃及的作為。後來,你們在曠野度過了一段漫長的歲月。 8 我領你們來到約旦河東邊亞摩利人居住的地方。他們跟你們爭戰,我把他們交在你們手中,使你們佔領他們的土地作自己的產業。我把他們從你們面前全部消滅。 9 那時,摩押王西撥的兒子巴勒起兵攻打你們,並派人去召比珥的兒子巴蘭來咒詛你們。 10 我不但沒有聽巴蘭的話,反而使他為你們連連祝福。這樣,我從巴勒手中救了你們。 11 你們過了約旦河來到耶利哥。耶利哥人、亞摩利人、比利洗人、迦南人、赫人、革迦撒人、希未人和耶布斯人都跟你們交戰,但我把他們交在你們手中。 12 我差黃蜂飛在你們前面,把亞摩利的兩個王從你們面前趕走,沒有動用你們一刀一弓。 13 你們沒有開墾土地,也沒有建造城邑,但我賜給你們土地和城邑,使你們住在其中,享用別人栽種的葡萄園和橄欖園的果子。』
14 「所以,你們要敬畏耶和華,誠心誠意地事奉祂,摒棄你們祖先在幼發拉底河那邊和在埃及所拜的神明,專心事奉耶和華。 15 如果你們不願意事奉耶和華,今天就選擇你們的神明吧,或大河那邊你們祖先事奉的神明,或你們這裡亞摩利人的神明。至於我和我全家,我們必事奉耶和華。」
16 民眾答道:「我們決不背棄耶和華去事奉別的神明, 17 因為我們的上帝耶和華曾領我們和我們的祖先脫離埃及人的奴役,在我們眼前行大神蹟,一路保護我們安然經過列邦。 18 耶和華把這地方的亞摩利人等外族人從我們面前趕走了,我們必事奉祂,因為祂是我們的上帝。」
19 約書亞說:「你們不能事奉耶和華,祂是一位聖潔的上帝,祂痛恨不貞,必不赦免你們的過犯和罪惡。 20 如果你們背棄耶和華,去拜外族的神明,儘管祂曾經恩待你們,也必降禍給你們,毀滅你們。」 21 民眾答道:「不,我們一定要事奉耶和華。」 22 約書亞說:「現在你們自己作證,你們已選擇事奉耶和華。」民眾答道:「我們願意自己作證。」 23 約書亞說:「這樣,你們現在就要摒棄你們中間的外族神明,專心歸向以色列的上帝耶和華。」 24 民眾答道:「我們必事奉我們的上帝耶和華,聽從祂的話。」 25 當天約書亞與民眾立約,在示劍為他們訂立律例和典章。 26 約書亞把這些話都寫在上帝的律法書上,又把一塊大石頭豎立在耶和華聖所旁邊的橡樹下。 27 然後,他對民眾說:「看啊,這塊石頭可以為我們作證,它聽到了耶和華所吩咐我們的話。如果你們背棄上帝,它必作證。」 28 於是,約書亞命民眾各自返回自己的地方。
約書亞去世
29 後來,耶和華的僕人、嫩的兒子約書亞去世了,享年一百一十歲。 30 以色列人把他葬在他的土地上,就是在迦實山北邊、以法蓮山區的亭拿·西拉。
31 約書亞在世的時候,以色列人都事奉耶和華。他死後,在那些經歷過耶和華奇妙作為的長老還健在期間,以色列人仍事奉耶和華。
32 以色列人把從埃及帶出來的約瑟的骸骨葬在示劍,在從前雅各用一百塊銀子向哈抹的子孫買的那塊地裡。哈抹是示劍的父親。後來那塊地成了約瑟子孫的產業。
33 亞倫的兒子以利亞撒也死了,他們把他葬在他兒子非尼哈分到的以法蓮山區的基比亞。
Yoswa 24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obubaka bwa Yoswa Obusembayo
24 (A)Awo Yoswa n’akuŋŋaanya ebika byonna ebya Isirayiri e Sekemu, n’ayita abakadde ba Isirayiri n’abakulembeze, abalamuzi era n’abakungu ba Isirayiri ne bajja babeere mu maaso ga Mukama. 2 (B)Yoswa n’agamba abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Edda ennyo bajjajjammwe nga mulimu ne Teera kitaawe wa Ibulayimu baabeeranga emitala w’omugga Fulaati, gye basinzizanga bakatonda abalala. 3 (C)Ne ndyoka nziggya jjajjammwe Ibulayimu emitala w’omugga, ne mmukulembera okumuyisa mu nsi ye Kanani, ne mmuwa Isaaka, ne mwongerako ezzadde. 4 (D)Isaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Esawu ne mmuwa ensi ey’ensozi eya Seyiri. Naye Yakobo n’abaana be ne mbatwala e Misiri.
5 (E)“ ‘Natuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Abamisiri n’ebibonoobono bye nabakola, oluvannyuma abaana ba Yakobo ne mbaggyayo. 6 (F)Bwe naggya bajjajjammwe e Misiri mwatuuka ku Nnyanja Emyufu. Abamisiri abaali mu magaali, n’abeebagadde embalaasi ne bawondera bajjajjammwe okutuuka ku Nnyanja Emyufu. 7 (G)Naye bajjajjammwe bwe baakaabirira Mukama Katonda abayambe, nateeka ekizikiza wakati wammwe n’Abamisiri; Abamisiri n’abayiwako ennyanja n’ebabuutikira. Amaaso gammwe ne galaba kye nakola Abamisiri; ne mutambulira mu ddungu okumala ebbanga ddene.
8 (H)“ ‘Nabaleeta mu nsi ey’Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, ne babalwanyisa, ne mbagabula mu mukono gwammwe. Ne nzikiriza Abamoli okubamalawo mu maaso gammwe ensi yaabwe ne ngigabira mmwe. 9 (I)Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, bwe yasituka okulwanyisa Isirayiri, n’atumya Balamu mutabani wa Byoli abakolimire; 10 (J)naye Balamu saamuwuliriza, n’abawa buwi mukisa emirundi n’emirundi. Bwe ntyo ne mbanunula mu mukono gwe.
11 (K)“ ‘Ne musomoka omugga Yoludaani ne mutuuka e Yeriko. Abantu b’omu Yeriko awamu n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abagirusi, n’Abakiivi, n’Abayebusi ne babalwanyisa naye ne mbagabula mu mukono gwammwe. 12 (L)Ne ntuma ennumba ezabakulembera ezagoba abalabe bammwe mu maaso gammwe, nga mwe muli bakabaka ababiri Abamoli; si mmwe mwakikola n’ekitala kyammwe wadde obusaale. 13 (M)Ne mbawa ensi gye mutaakolerera, ebibuga bye mutaazimba mwe mutudde kaakano, mulya ebibala by’emizabbibu n’emizeeyituuni bye mutaasimba.’
14 (N)“Noolwekyo kaakano mutye Mukama Katonda era mumuweereze mu bwesimbu era mu mazima, muggyeewo bakatonda babajjajjammwe be baawererezanga emitala w’omugga ne mu Misiri, muweereze Mukama Katonda. 15 (O)Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda.”
16 Abantu ne balyoka baddamu ne bagamba nti, “Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala. 17 Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu Misiri mu nsi ey’obuddu, n’akola ebyewuunyo eby’ekitalo nga tulaba, n’atukuuma mu kkubo lyonna ne mu mawanga gonna ge twayitamu. 18 Mukama Katonda n’agoba amawanga gonna mu maaso gaffe nga mwe muli Abamoli, abaali mu nsi. Naffe kyetunaava tuweerezanga Mukama Katonda, kubanga ye Katonda waffe.”
19 (P)Yoswa n’agamba abantu nti, “Kizibu okuweereza Mukama, kubanga Katonda mutukuvu, Katonda wa buggya, taasonyiwenga bujeemu bwammwe newaakubadde ebibi byammwe. 20 (Q)Obanga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abalala, alibakyukira n’abazikiriza n’abamalawo ate nga bulijjo abadde abayisa bulungi.” 21 Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Nedda, tunaweerezanga Mukama.” 22 (R)Yoswa n’agamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama Katonda.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.”
23 (S)N’abagamba nti, “Kale muggyeewo bakatonda abalala abali wakati mu mmwe, era emitima gyammwe mugizze eri Mukama Katonda wa Isirayiri.” 24 (T)Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Tujja kuweerezanga Mukama Katonda waffe era tujja kumugonderanga.”
25 (U)Awo Yoswa n’akola endagaano n’abantu ku lunaku olwo, n’abakolera amateeka n’ebiragiro. 26 (V)Era n’awandiika ebintu bino mu kitabo ky’amateeka ekya Katonda, n’atwala ejjinja eddene ennyo n’aliteeka wansi w’omwera ogwali mu kifo kya Mukama Katonda ekitukuvu. 27 (W)Yoswa n’agamba abantu nti, “Mulabe ejjinja lino lijja kubeeranga omujulizi gye tuli, liwulidde ebigambo byonna Mukama Katonda bya tugambye. Era lijja kubeeranga omujulizi gye muli bwe mutaabeerenga beesigwa eri Katonda wammwe.”
28 Yoswa n’asindika abantu bagende, buli omu mu mugabo gwe.
29 (X)Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Mukama, n’afa ng’awezezza emyaka kikumi mu kkumi. 30 (Y)Ne bamuziika mu ttaka ly’obusika bwe lye yaweebwa e Timunasusera, ekiri mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ku luuyi olw’obukiikakkono olw’olusozi Gaasi.
31 (Z)Abayisirayiri ne baweereza Mukama ennaku zonna ez’abakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa era abaamanya emirimu gyonna Mukama Katonda gye yakolera Isirayiri.
32 (AA)N’amagumba ga Yusufu, abaana ba Isirayiri ge baggya e Misiri ne bagaziika e Sekemu, mu kifo ky’ettaka Yakobo kye yagula ebitundu bya ffeeza kikumi ku batabani ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu ne liba omugabo gw’abaana ba Yusufu.
33 (AB)Eriyazaali mutabani wa Alooni naye n’afa, n’aziikibwa ku lusozi Gibea olwaweebwa Finekaasi mutabani we, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.