Engero 3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Emikisa Egiva mu kuba n’amagezi
3 (A)Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,
era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,
2 (B)kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,
era bikukulaakulanye.
3 (C)Amazima n’ekisa tobyerabiranga;
byesibe mu bulago bwo,
obiwandiike ku mutima gwo.
4 (D)Bw’otyo bw’onoofuna okuganja n’okusiimibwa
eri Katonda n’eri abantu.
5 (E)Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna,
so teweesigamanga ku magezi go gokka.
6 (F)Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,
naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.
7 (G)Amagezi go tegakusigulanga,
naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.
8 (H)Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo
n’amagumba go ne gadda buggya.
Amagezi n’Obugagga
9 (I)Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,
10 (J)olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu,
era n’amasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.
11 (K)Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,
n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,
12 (L)kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala,
nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.
13 Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi,
omuntu oyo afuna okutegeera,
14 (M)kubanga amagezi gasinga ffeeza
era galimu amagoba okusinga zaabu.
15 (N)Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi:
era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
16 (O)Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi;
ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
17 (P)Mu magezi mulimu essanyu,
era n’amakubo gaago ga mirembe.
18 (Q)Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza;
abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.
19 (R)Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi;
n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;
20 n’okumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bw’ennyanja,
era n’ebire ne bivaamu omusulo.
Ab’amagezi Baweebwa Ekitiibwa
21 (S)Mwana wange, beeranga n’okuteesa okulungi n’okusalawo ebisaana,
ebyo biremenga okukuvaako,
22 (T)binaabeeranga obulamu eri emmeeme yo,
era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo.
23 (U)Bw’otyo bw’onootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo,
era ekigere kyo tekijjanga kwesittala.
24 (V)Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya,
weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.
25 Totyanga kabenje kootomanyiridde,
wadde okuzikirira okujjira abakozi b’ebibi,
26 (W)Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo,
era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.
27 Tommanga birungi abo be bisaanira
bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.
28 (X)Togambanga muliraanwa wo nti,
“Genda, onodda enkya ne nkuwa,”
ate nga kye yeetaaga okirina.
29 Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo,
atudde emirembe ng’akwesiga.
30 Tovunaananga muntu n’omu awatali nsonga
nga talina kabi k’akukoze.
Proverbs 3
King James Version
3 My son, forget not my law; but let thine heart keep my commandments:
2 For length of days, and long life, and peace, shall they add to thee.
3 Let not mercy and truth forsake thee: bind them about thy neck; write them upon the table of thine heart:
4 So shalt thou find favour and good understanding in the sight of God and man.
5 Trust in the Lord with all thine heart; and lean not unto thine own understanding.
6 In all thy ways acknowledge him, and he shall direct thy paths.
7 Be not wise in thine own eyes: fear the Lord, and depart from evil.
8 It shall be health to thy navel, and marrow to thy bones.
9 Honour the Lord with thy substance, and with the firstfruits of all thine increase:
10 So shall thy barns be filled with plenty, and thy presses shall burst out with new wine.
11 My son, despise not the chastening of the Lord; neither be weary of his correction:
12 For whom the Lord loveth he correcteth; even as a father the son in whom he delighteth.
13 Happy is the man that findeth wisdom, and the man that getteth understanding.
14 For the merchandise of it is better than the merchandise of silver, and the gain thereof than fine gold.
15 She is more precious than rubies: and all the things thou canst desire are not to be compared unto her.
16 Length of days is in her right hand; and in her left hand riches and honour.
17 Her ways are ways of pleasantness, and all her paths are peace.
18 She is a tree of life to them that lay hold upon her: and happy is every one that retaineth her.
19 The Lord by wisdom hath founded the earth; by understanding hath he established the heavens.
20 By his knowledge the depths are broken up, and the clouds drop down the dew.
21 My son, let not them depart from thine eyes: keep sound wisdom and discretion:
22 So shall they be life unto thy soul, and grace to thy neck.
23 Then shalt thou walk in thy way safely, and thy foot shall not stumble.
24 When thou liest down, thou shalt not be afraid: yea, thou shalt lie down, and thy sleep shall be sweet.
25 Be not afraid of sudden fear, neither of the desolation of the wicked, when it cometh.
26 For the Lord shall be thy confidence, and shall keep thy foot from being taken.
27 Withhold not good from them to whom it is due, when it is in the power of thine hand to do it.
28 Say not unto thy neighbour, Go, and come again, and to morrow I will give; when thou hast it by thee.
29 Devise not evil against thy neighbour, seeing he dwelleth securely by thee.
30 Strive not with a man without cause, if he have done thee no harm.
31 Envy thou not the oppressor, and choose none of his ways.
32 For the froward is abomination to the Lord: but his secret is with the righteous.
33 The curse of the Lord is in the house of the wicked: but he blesseth the habitation of the just.
34 Surely he scorneth the scorners: but he giveth grace unto the lowly.
35 The wise shall inherit glory: but shame shall be the promotion of fools.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.