历代志上 6
Chinese Contemporary Bible (Simplified)
利未的后裔
6 利未的儿子是革顺、哥辖和米拉利。 2 哥辖的儿子是暗兰、以斯哈、希伯仑和乌薛。 3 暗兰的儿子是亚伦和摩西,女儿是米利暗。亚伦的儿子是拿答、亚比户、以利亚撒和以他玛。 4 以利亚撒生非尼哈,非尼哈生亚比书, 5 亚比书生布基,布基生乌西, 6 乌西生西拉希雅,西拉希雅生米拉约, 7 米拉约生亚玛利雅,亚玛利雅生亚希突, 8 亚希突生撒督,撒督生亚希玛斯, 9 亚希玛斯生亚撒利雅,亚撒利雅生约哈难, 10 约哈难生亚撒利雅——这亚撒利雅在耶路撒冷 所罗门建的圣殿里任祭司, 11 亚撒利雅生亚玛利雅,亚玛利雅生亚希突, 12 亚希突生撒督,撒督生沙龙, 13 沙龙生希勒迦,希勒迦生亚撒利雅, 14 亚撒利雅生西莱雅,西莱雅生约萨答。 15 在耶和华借尼布甲尼撒掳掠犹大和耶路撒冷人的时候,约萨答也一起被掳去了。
16 利未的儿子是革顺、哥辖和米拉利。 17 革顺的儿子一个叫立尼,一个叫示每。 18 哥辖的儿子是暗兰、以斯哈、希伯仑、乌薛。 19 米拉利的儿子是抹利和姆示。以上是利未人按宗族分的各家族。
20 革顺的儿子是立尼,立尼的儿子是雅哈,雅哈的儿子是薪玛, 21 薪玛的儿子是约亚,约亚的儿子是易多,易多的儿子是谢拉,谢拉的儿子是耶特赖。
22 哥辖的儿子是亚米拿达,亚米拿达的儿子是可拉,可拉的儿子是亚惜, 23 亚惜的儿子是以利加拿,以利加拿的儿子是以比雅撒,以比雅撒的儿子是亚惜, 24 亚惜的儿子是他哈,他哈的儿子是乌列,乌列的儿子是乌西雅,乌西雅的儿子是少罗。 25 以利加拿的儿子是亚玛赛和亚希摩。 26 亚希摩的儿子是以利加拿,以利加拿的儿子是琐菲,琐菲的儿子是拿哈, 27 拿哈的儿子是以利押,以利押的儿子是耶罗罕,耶罗罕的儿子是以利加拿,以利加拿的儿子是撒母耳。 28 撒母耳的长子是约珥,次子是亚比亚。 29 米拉利的儿子是抹利,抹利的儿子是立尼,立尼的儿子是示每,示每的儿子是乌撒, 30 乌撒的儿子是示米亚,示米亚的儿子是哈基雅,哈基雅的儿子是亚帅雅。
圣殿的歌乐手
31 约柜安放在耶和华的殿中之后,大卫便派人在那里负责歌乐。 32 他们按班次在会幕供职,一直到所罗门在耶路撒冷建造了耶和华的殿。 33 以下是负责歌乐的人及其后代:
哥辖的后代有希幔。希幔是约珥的儿子,约珥是撒母耳的儿子, 34 撒母耳是以利加拿的儿子,以利加拿是耶罗罕的儿子,耶罗罕是以列的儿子,以列是陀亚的儿子, 35 陀亚是苏弗的儿子,苏弗是以利加拿的儿子,以利加拿是玛哈的儿子,玛哈是亚玛赛的儿子, 36 亚玛赛是以利加拿的儿子,以利加拿是约珥的儿子,约珥是亚撒利雅的儿子,亚撒利雅是西番雅的儿子, 37 西番雅是他哈的儿子,他哈是亚惜的儿子,亚惜是以比雅撒的儿子,以比雅撒是可拉的儿子, 38 可拉是以斯哈的儿子,以斯哈是哥辖的儿子,哥辖是利未的儿子,利未是以色列的儿子。 39 希幔的族兄和助手亚萨是比利迦的儿子,比利迦是示米亚的儿子, 40 示米亚是米迦勒的儿子,米迦勒是巴西雅的儿子,巴西雅是玛基雅的儿子, 41 玛基雅是伊特尼的儿子,伊特尼是谢拉的儿子,谢拉是亚大雅的儿子, 42 亚大雅是以探的儿子,以探是薪玛的儿子,薪玛是示每的儿子, 43 示每是雅哈的儿子,雅哈是革顺的儿子,革顺是利未的儿子。 44 希幔和亚萨的族兄和助手有米拉利的后代以探。以探是基示的儿子,基示是亚伯底的儿子,亚伯底是玛鹿的儿子, 45 玛鹿是哈沙比雅的儿子,哈沙比雅是亚玛谢的儿子,亚玛谢是希勒迦的儿子, 46 希勒迦是暗西的儿子,暗西是巴尼的儿子,巴尼是沙麦的儿子, 47 沙麦是末力的儿子,末力是姆示的儿子,姆示是米拉利的儿子,米拉利是利未的儿子。 48 希幔和亚萨的同族弟兄利未人都奉派到会幕——上帝的殿中担任各种职务。
49 亚伦和他的后代在祭坛和香坛上献祭烧香,负责至圣所里的各种工作,为以色列人赎罪,正如上帝的仆人摩西的吩咐。 50 以下是亚伦的后代:以利亚撒、非尼哈、亚比书、 51 布基、乌西、西拉希雅、 52 米拉约、亚玛利雅、亚希突、 53 撒督、亚希玛斯。
利未人住的地方
54 以下是哥辖族人亚伦的后代分到的地方:
他们抽中第一签, 55 得到了犹大境内的希伯仑城及其周围的草场, 56 但城外的田地和村庄分给了耶孚尼的儿子迦勒。 57 亚伦的子孙得到避难城希伯仑、立拿及其周围的草场、雅提珥、以实提莫及其周围的草场、 58 希仑、底璧、 59 亚珊、伯·示麦及这些城邑周围的草场。 60 他们还得到了便雅悯支派的迦巴、阿勒篾、亚拿突及这些城邑周围的草场。他们各宗族所得的城邑共十三座。
61 哥辖族其余的人从玛拿西半个支派中抽签分到了十座城。 62 革顺各宗族的人从以萨迦、亚设和拿弗他利支派以及玛拿西支派的巴珊地区分到了十三座城。 63 米拉利各宗族的人从吕便、迦得和西布伦支派抽签分到十二座城。 64 以色列人把这些城邑及其周围的草场分给了利未人。 65 以上提到的犹大、西缅和便雅悯支派的城邑也是用抽签的方式分给他们的。 66 哥辖的一些宗族从以法莲支派分到城邑, 67 其中有以法莲山区的避难城示剑及其周围的草场,还有基色、 68 约缅、伯·和仑、 69 亚雅仑和迦特·临门及这些城邑周围的草场。 70 哥辖族其余的人从玛拿西半个支派中得到了亚乃、比连城及其周围的草场。 71 革顺族从玛拿西半个支派中得到了巴珊的哥兰及其周围的草场,亚斯她录及其周围的草场。 72 他们从以萨迦支派得到了基低斯、大比拉、 73 拉末、亚念及这些城邑周围的草场。 74 他们从亚设支派得到了玛沙、押顿、 75 户割、利合及这些城邑周围的草场。 76 他们从拿弗他利支派得到了加利利的基低斯、哈们、基列亭及这些城邑周围的草场。 77 米拉利族的人从西布伦支派得到了临摩挪和他泊城及其周围的草场; 78 从约旦河东岸、耶利哥对面的吕便支派得到了旷野中的比悉、雅哈撒、 79 基底莫、米法押及这些城邑的草场; 80 从迦得支派得到了基列的拉末及其周围的草场、玛哈念、 81 希实本、雅谢及这些城邑周围的草场。
1 Ebyomumirembe 6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekika kya Leevi
6 (A)Batabani ba Leevi baali
Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
2 Batabani ba Kokasi ne baba
Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
3 (B)Ate abaana ba Amulaamu baali
Alooni, ne Musa ne Miryamu.
Batabani ba Alooni baali
Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
4 Eriyazaali n’azaala Finekaasi,
ate Finekaasi n’azaala Abisuwa;
5 Abisuwa n’azaala Bukki,
ate Bukki n’azaala Uzzi;
6 Uzzi n’azaala Zerakiya,
ne Zerakiya n’azaala Merayoosi;
7 Merayoosi n’azaala Amaliya,
ne Amaliya n’azaala Akitubu;
8 (C)Akitubu n’azaala Zadooki,
ate Zadooki n’azaala Akimaazi;
9 Akimaazi n’azaala Azaliya,
ne Azaliya n’azaala Yokanaani;
10 (D)Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);
11 Azaliya n’azaala Amaliya,
ne Amaliya n’azaala Akitubu;
12 Akitubu n’azaala Zadooki,
ne Zadooki n’azaala Sallumu;
13 (E)Sallumu n’azaala Kirukiya,
ne Kirukiya n’azaala Azaliya;
14 (F)Azaliya n’azaala Seraya,
ne Seraya n’azaala Yekozadaki;
15 (G)Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.
16 (H)Batabani ba Leevi baali
Gerusomu, ne Kokasi ne Merali.
17 Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu,
ne Libuni ne Simeeyi.
18 Batabani ba Kokasi baali
Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.
19 (I)Batabani ba Merali baali
Makuli ne Musi.
Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:
20 Abaava mu Gerusomu baali
Libuni mutabani we, ne Yakasi,
ne Zimura, 21 ne Yowa,
ne Iddo, ne Zeera,
ne Yeyaserayi.
22 (J)Bazzukulu ba Kokasi baali
Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we,
Assiri muzzukulu we; 23 Erukaana muzzukulu we,
Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;
24 (K)Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.
25 Batabani ba Erukaana baali
Amasayi ne Akimosi,
26 ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi,
ne Nakasi, 27 (L)ne Eriyaabu,
ne Yerokamu, ne Erukaana
ne Samwiri.
28 (M)Batabani ba Samwiri baali
Yoweeri omuggulanda we,
n’owokubiri nga ye Abiya.
29 Bazzukulu ba Merali baali
Makuli, ne Libuni,
ne Simeeyi, ne Uzza,
30 ne Simeeyi, ne Kaggiya
ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana.
31 (N)Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu. 32 Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.
33 (O)Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe:
Okuva mu Abakokasi;
Kemani, omuyimbi,
mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,
34 (P)muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu,
muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa,
35 muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana,
muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;
36 muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri,
muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,
37 (Q)muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri,
muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,
38 (R)muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi,
muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.
39 (S)Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati:
Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,
40 muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya,
muzzukulu wa Malukiya, 41 muzzukulu wa Esuni,
muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,
42 muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma,
muzzukulu wa Simeeyi, 43 muzzukulu wa Yakasi,
muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.
44 Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi,
Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi,
muzzukulu wa Malluki, 45 muzzukulu wa Kasukabiya,
muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,
46 muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani,
muzzukulu wa Semeri, 47 muzzukulu wa Makuli,
muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali,
mutabani wa Leevi.
48 (T)Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.
Ennyumba ya Alooni
49 (U)Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.
50 Bano be baava mu nda ya Alooni:
mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi,
muzzukulu we Abisuwa, 51 muzzukulu we Bukki,
muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya,
52 muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya,
muzzukulu we Akitubu, 53 (V)muzzukulu we Zadooki,
ne muzzukulu we Akimaazi.
54 (W)Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.
55 Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde, 56 (X)naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune. 57 (Y)Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo, 58 (Z)Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo, 59 (AA)Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.
60 (AB)Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni[a] ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.
61 Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.
62 Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.
63 Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.
64 (AC)Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.
65 N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.
66 Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.
67 (AD)Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri, 68 (AE)ne Yokumyamu, ne Besukolooni, 69 (AF)ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.
70 N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.
71 (AG)Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi:
okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako.
72 (AH)Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi 73 Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);
74 (AI)okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni, 75 (AJ)Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;
76 (AK)n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.
77 Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi:
okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo;
78 (AL)okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza, 79 (AM)Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;
80 (AN)n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu, 81 (AO)Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.
Footnotes
- 6:60 Gibyoni erinnya eryo teryali mu muzingo ogwawandiikibwa mu Lwebbulaniya
Chinese Contemporary Bible Copyright © 1979, 2005, 2007, 2011 by Biblica® Used by permission. All rights reserved worldwide.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.