Leviticus 15
Complete Jewish Bible
15 Adonai said to Moshe and Aharon, 2 “Tell the people of Isra’el, ‘When any man has a discharge from his body, the discharge is unclean. 3 The discharge is unclean no matter whether it continues flowing or has stopped; it is still his uncleanness. 4 Every bed which the person with the discharge lies on is unclean, and everything he sits on is unclean. 5 Whoever touches his bed is to wash his clothes and bathe himself in water; he will be unclean until evening. 6 Whoever sits on anything the person with the discharge sat on is to wash his clothes and bathe himself in water; he will be unclean until evening. 7 Anyone who touches the body of the person with the discharge is to wash his clothes and bathe himself in water; he will be unclean until evening. 8 If the person with the discharge spits on someone who is clean, the latter is to wash his clothes and bathe himself in water; he will be unclean until evening. 9 Any saddle that the person with the discharge rides on will be unclean. 10 Whoever touches anything that was under him will be unclean until evening; he who carries those things is to wash his clothes and bathe himself in water; he will be unclean until evening. 11 If the person with the discharge fails to rinse his hands in water before touching someone, that person is to wash his clothes and bathe himself in water; he will be unclean until evening. 12 If the person with the discharge touches a clay pot, it must be broken; if he touches a wooden utensil, it must be rinsed in water.
13 “‘When a person with a discharge has become free of it, he is to count seven days for his purification. Then he is to wash his clothes and bathe his body in running water; after that, he will be clean. 14 On the eighth day, he is to take for himself two doves or two young pigeons, come before Adonai to the entrance of the tent of meeting and give them to the cohen. 15 The cohen is to offer them, the one as a sin offering and the other as a burnt offering; thus the cohen will make atonement for him on account of his discharge before Adonai.
(RY: vii, LY: vi) 16 “‘If a man has a seminal emission, he is to bathe his entire body in water; he will be unclean until evening. 17 Any clothing or leather on which there is any semen is to be washed with water; it will be unclean until evening. 18 If a man goes to bed with a woman and has sexual relations, both are to bathe themselves in water; they will be unclean until evening.
19 “‘If a woman has a discharge, and the discharge from her body is blood, she will be in her state of niddah for seven days. Whoever touches her will be unclean until evening. 20 Everything she lies on or sits on in her state of niddah will be unclean. 21 Whoever touches her bed is to wash his clothes and bathe himself in water; he will be unclean until evening. 22 Whoever touches anything she sits on is to wash his clothes and bathe himself in water; he will be unclean until evening. 23 Whether he is on the bed or on something she sits on, when he touches it, he will be unclean until evening. 24 If a man goes to bed with her, and her menstrual flow touches him, he will be unclean seven days; and every bed he lies on will be unclean.
25 “‘If a woman has a discharge of blood for many days not during her period, or if her discharge lasts beyond the normal end of her period, then throughout the time she is having an unclean discharge she will be as when she is in niddah — she is unclean. 26 Every bed she lies on at any time while she is having her discharge will be for her like the bed she uses during her time of niddah; and everything she sits on will be unclean with uncleanness like that of her time of niddah. 27 Whoever touches those things will be unclean; he is to wash his clothes and bathe himself in water; he will be unclean until evening.
28 “‘If she has become free of her discharge, she is to count seven days; after that, she will be clean. (LY: vii) 29 On the eighth day, she is to take for herself two doves or two young pigeons and bring them to the cohen at the entrance to the tent of meeting. 30 The cohen is to offer the one as a sin offering and the other as a burnt offering; thus the cohen will make atonement for her before Adonai on account of her unclean discharge.
(Maftir) 31 “‘In this way you will separate the people of Isra’el from their uncleanness, so that they will not die in a state of uncleanness for defiling my tabernacle which is there with them.
32 “‘Such is the law for the person who has a discharge; for the man who has a seminal emission that makes him unclean; 33 for the woman in niddah during her menstrual period; for the person, man or woman, with a discharge; and for the man who has sexual relations with a woman who is unclean.
Haftarah M’tzora: M’lakhim Bet (2 Kings) 7:3–20
B’rit Hadashah suggested readings for Parashah M’tzora: Mattityahu (Matthew) 9:20–26; Mark 5:24b–34; Luke 8:42b– 48; Messianic Jews (Hebrews) 13:4
Ebyabaleevi 15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amateeka ku Butali Bulongoofu mu Basajja
15 Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, 2 (A)“Mugambe abaana ba Isirayiri nti omusajja yenna bw’anaavangamu ebitonnya mu bitundu bye ebyekyama, ebimuvaamu ebyo binaabanga ebitali birongoofu. 3 Era lino ly’etteeka ery’obutali bulongoofu bwe obuleeteddwa ebyo ebimuvaamu: obanga bitonnya obutasalako, obanga birekeddaawo, bunaabanga obutali bulongoofu mu musajja oyo.
4 “Buli kitanda omusajja oyo alina ebimuvaamu ky’anaasulangako kinaabanga si kirongoofu, ne buli kintu ky’anaatuulangako kyonna kinaabanga si kirongoofu. 5 (B)Omuntu yenna anaakwatanga ku kitanda ky’omusajja oyo naye anaafuukanga atali mulongoofu okutuusiza ddala akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 6 Omuntu yenna anaatuulanga ku kintu kyonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’anaabanga amaze okutuula, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 7 (C)Era omuntu yenna anaakwatanga ku musajja oyo alina ebimuvaamu, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 8 (D)Omusajja oyo alina ebimuvaamu bw’anaawandanga amalusu ku muntu omulongoofu, omuntu oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 9 Era n’amatandiiko gonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’aneebagaliranga ganaabanga agatali malongoofu, 10 (E)era n’omuntu anaakwatanga ku kintu ekirala kyonna ekinaabanga wansi w’omusajja oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 11 Omuntu yenna, omusajja oyo alina ebimuvaamu gw’anaakwatangako nga tasoose kunaaba mu ngalo mu mazzi anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 12 (F)Ekibumbe kyonna ekikozesebwa mu maka bwe kinaakwatibwangako omusajja oyo alina ebimuvaamu kinaayasibwanga, na buli ekikozesebwa mu maka eky’omuti kinaanaazibwanga mu mazzi.
13 (G)“Omusajja anaabanga alina ebimuvaamu bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu ez’okufuulibwa omulongoofu; anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi amayonjo agakulukuta, bw’atyo anaafuukanga mulongoofu. 14 (H)Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona. 15 (I)Kabona anaabiwangayo, ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiririranga omusajja oyo olw’ebimuvaamu eri Mukama.
16 (J)“Omusajja bw’anaavangamu amazzi g’obusajja anaateekwanga okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 17 Buli lugoye olwambalwa oba eddiba nga kuliko amazzi g’obusajja, binaateekwanga okwozebwa mu mazzi, era binaabanga ebitali birongoofu okutuusa akawungeezi. 18 (K)Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi, ne wabaawo amazzi g’obusajja agafulumizibbwa, bombi banaanaabanga mu mazzi agatukula, era banaabeeranga abatali balongoofu okutuusa akawungeezi.
Amateeka ku Butali Bulongoofu mu Bakazi
19 (L)“Omukazi bw’anaavangamu omusaayi ng’empisa ye eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu, ne buli anaamukwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 20 Mu bbanga eryo ng’omukazi oyo si mulongoofu buli kintu kyonna ky’anaagalamirangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ne buli kintu kyonna ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu. 21 (M)Era buli anaakwatanga ku kitanda kye kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22 Buli anaakwatanga ku kintu kyonna omukazi oyo ky’atuulako, anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 23 Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu ekirala kyonna omukazi oyo ky’anaabanga atuddeko, omuntu bw’anaakikwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 24 (N)Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi oyo, omusaayi gw’omukazi ogumuvaamu ogwa buli mwezi ne gumutonnyako, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu; n’ekitanda kw’anaagalamiranga nakyo kinaabanga ekitali kirongoofu.
25 (O)“Omukazi bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku nnyingi mu biseera ebitali ebyo ebya buli mwezi nga bwe kiba bulijjo, oba bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku ezisukka ku za bulijjo eza buli mwezi, anaabeeranga atali mulongoofu mu bbanga ly’anaamalanga ng’avaamu omusaayi, nga mu biseera bye ebya buli mwezi. 26 Buli kitanda ky’anaagalamirangako ng’omusaayi gukyamuvaamu kinaabeeranga ekitali kirongoofu, ng’ekitanda kye bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi eby’okuvaamu omusaayi, era ne buli kintu ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu nga bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi. 27 Buli muntu anaakwatanga ku bintu ebyo anaabeeranga atali mulongoofu; kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Naye omukazi oyo avaamu omusaayi bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu, N’oluvannyuma lwazo anaabeeranga mulongoofu. 29 (P)Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri, oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona. 30 (Q)Kabona anaawangayo ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi, n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiriranga omukazi oyo eri Mukama olw’ekitali kirongoofu ekimuvaamu.
31 (R)“Bwe mutyo bwe munaakugiranga abaana ba Isirayiri balemenga okusemberera ebintu ebibafuula abatali balongoofu, balemenga okufa olw’obutali bulongoofu bwabwe okuboonoonyesa Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eri wakati mu bo.
32 (S)“Ago ge mateeka ku musajja alina ebimuvaamu mu bitundu bye eby’ekyama, n’oyo avaamu amazzi g’obusajja; 33 (T)ne ku mukazi anaavangamu omusaayi ng’empisa y’abakazi eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba. Amateeka ago ganaakwatanga ku musajja oba ku mukazi alina ebimuvaamu, ne ku musajja aneebakanga n’omukazi atali mulongoofu.”
Copyright © 1998 by David H. Stern. All rights reserved.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.