Olubereberye 31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yakobo Ateekateeka Okudda Ewaabwe
31 Awo Yakobo n’awulira nga batabani ba Labbaani bagamba nti, “Yakobo atutte ebyo byonna ebyali ebya kitaffe, era mu byali ebya kitaffe mw’aggye obugagga buno bwonna.” 2 Era Yakobo n’alaba nga Labbaani takyamufaako nga bwe yali olubereberye.
3 (A)Awo Mukama n’agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, mu bantu bo, era nnaabeeranga naawe.” 4 Awo Yakobo kwe kutumya Laakeeri ne Leeya ku ttale gye baalundiranga ekisibo. 5 (B)Bwe baatuuka n’abagamba nti, “Ndaba nga kitammwe takyanfaako nga bwe yakolanga olubereberye, naye Katonda wa kitange abadde nange. 6 (C)Mumanyi bwe naweerea kitammwe n’amaanyi gange gonna. 7 (D)Kyokka ye kitammwe yandyazaamanya n’akyusa empeera yange n’agikendeeza emirundi kkumi; wabula Katonda n’atamukkiriza kundeetako kabi. 8 (E)Kale bwe yagambanga nti, ‘Eza bugondogondo ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza bugondogondo, era bwe yayogeranga nti eza biwuuga ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga.’ 9 (F)Bw’atyo Katonda aggye ku kitammwe ensolo ze n’azimpa.
10 “Mu kiseera ensolo mwe ziwakira, naloota nga nnyimusa amaaso gange nga ndaba embuzi ennume nga zirinyira enkazi eza biwuuga n’eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo. 11 (G)Ne mu kirooto ekyo malayika wa Katonda n’ampita nti, ‘Yakobo.’ Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’ 12 (H)N’aŋŋamba nti, ‘Yimusa amaaso go olabe, embuzi zonna ezirinnyira ekisibo bwe ziri eza biwuuga, eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo; kubanga ndabye ebyo byonna Labbaani by’akukoze. 13 (I)Nze Katonda w’e Beseri gye wafukira amafuta ku jjinja lye wasimba, gye weeyamira obweyamo. Kale kaakano golokoka ove mu nsi muno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwa.’ ”
14 Awo Laakeeri ne Leeya ne bamuddamu nti, “Ekyo kituufu kubanga tetulina mugabo, mu busika bwa kitaffe. 15 (J)Era atutwala ng’abatali ba mu nnyumba ye. Kubanga yatutunda, era ebyatuvaamu bya badde akozesa. 16 Eby’obugagga byonna Katonda bya muggyeko, bifuuse byaffe n’abaana baffe. Kale kaakano buli Katonda ky’akugambye okukola kikole.”
Yakobo Adduka Okuva ku Labbaani
17 Awo Yakobo n’agolokoka, n’ateeka batabani be ne bakazi be ku ŋŋamira; 18 (K)n’agoba ente ze zonna, n’ebisolo bye ebirala byonna bye yafuna: obugagga bwe bwonna bwe yafunira mu Padanalaamu, agende mu nsi ya Kanani eri kitaawe Isaaka.
19 (L)Labbaani yali agenze kusala byoya ku ndiga ze, Laakeeri n’abba bakatonda b’omu nnyumba ya Labbaani. 20 (M)Yakobo n’adduka ku Labbaani Omusuuli, era teyamutegeeza nti amuvaako agende. 21 (N)Yadduka ne byonna bye yalina, n’agolokoka n’asomoka omugga Fulaati, n’ayolekera Giriyaadi ensi ey’ensozi.
22 Ku lunaku olwokusatu Labbaani bwe yategeezebwa nti Yakobo yamuddukako, 23 Labbaani n’atwala basajja be, n’awondera Yakobo okumala ennaku musanvu, mu Giriyaadi ensi ey’ensozi. 24 (O)Naye Katonda n’ajjira Labbaani, Omusuuli, mu kirooto, ekiro, n’amugamba nti, “Weegendereze, toyogera na Yakobo kigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.”
25 Awo Labbaani n’atuuka ku Yakobo, eyali akubye eweema ye mu nsi ey’ensozi, Labbaani ne basajja be nabo ne basiisira mu nsi ey’ensozi eya Giriyaadi. 26 (P)Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Okoze ki, okuntwalako bawala bange mu kyama ne babanga abanyage? 27 (Q)Kiki ekyakuddusa mu kyama nga tombuuliddeko, ndyoke, nkusibule mu kinyumu: n’ennyimba, n’ebitaasa, n’ennanga. 28 (R)Kale lwaki tewaŋŋanya na kugwa mu kifuba bazzukulu bange ne bawala bange okubasiibula? Ekyo kye wakola si kya buntubulamu. 29 (S)Mbadde nsobola okukukola akabi, wabula Katonda wa kitaawo yayogedde nange ekiro kino, n’aŋŋamba nti, ‘Weegendereze oleme okwogera ne Yakobo ekigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.’ 30 (T)Ne kaakano ogenda kubanga wayagala nnyo okuddayo mu nnyumba ya kitaawo; naye wabbira ki bakatonda bange?”
31 Yakobo n’addamu Labbaani nti, “Natya, kubanga n’alowooza nti oyinza okunnyagako bawala bo. 32 (U)Naye gw’onoosanga ne bakatonda bo taabe mulamu; waakufa. Mu maaso ga bantu baffe bano, ndaga ekikyo kye nnina okitwale.” Yakobo teyamanya nti Laakeeri abbye bakatonda ba Labbaani.
33 Labbaani n’ayingira mu weema ya Yakobo ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey’abaweereza bombi; naye n’atalaba bakatonda be. N’ava mu weema ya Leeya, n’ayingira mu ya Laakeeri. 34 (V)Laakeeri yali atutte bakatonda ba Labbaani, n’abateeka ku matandiiko g’eŋŋamira, n’abatuulako. Labbaani n’ayaza weema yonna naye n’atabalabamu.
35 (W)Laakeeri n’agamba kitaawe nti, “Mukama wange aleme okusunguwala kubanga sisobola kuyimirira w’oli kubanga ndi mu mpisa y’abakazi.” Labbaani n’anoonya naye n’atalaba bakatonda be. 36 Awo Yakobo n’alyoka ajjula obusungu ne yeejuumulira Labbaani, n’amugamba nti, “Nzizizza musango ki? Kibi ki kye nnina, olyoke ongoberere n’obukaali butyo? 37 (X)Bw’oyazizza mu bintu byange, kikyo ki ky’osanzemu? Kiteeke wano wakati mu maaso g’abantu bange n’ababo, balyoke basalewo omusobya ku fembi.
38 “Emyaka gino gyonna amakumi abiri gye mbadde naawe, endiga zo ne mbuzi zo tezisowolanga, era siryanga ndiga mu kisibo kyo. 39 (Y)Eyo eyataagulwanga ensolo enkambwe ey’omu nsiko saagikuleeteranga, nze nafiirwanga, waginsabanga, wadde eyo eyabbibwanga ekiro oba emisana nayo yabalirwanga ku nze. 40 Ekyo ne kindeetera essana okunzigwerangako, n’okubeeranga mu mpewo ekiro, n’otulo ne tumbula. 41 (Z)Emyaka gino amakumi abiri mbadde mu nnyumba yo; n’akuweereza emyaka kkumi n’ena olwa bawala bo bombi, ate ne nkuweereza emyaka mukaaga mu kisibo kyo, kyokka okyusizza empeera yange emirundi kkumi. 42 (AA)Singa Katonda wa kitange, era Katonda wa Ibulayimu, Katonda Entiisa ya Isaaka teyali ku lwange, mazima ddala wandinsiibudde ngalo nsa! Katonda yalabye okubonaabona n’okutegana kwange, kyeyavudde akunenya ekiro.”
Endagaano wakati wa Yakobo ne Labbaani
43 Awo Labbaani n’addamu Yakobo nti, “Bano bawala bange, n’abaana baabwe bazzukulu bange, n’ebisibo, bisibo byange era ne byonna byolaba byange. Naye bawala bange n’abaana baabwe be bazadde, nnyinza kubakolera ki leero? 44 (AB)Kale jjangu tukole endagaano gwe nange, ebeere omujulirwa wakati wo nange.” 45 (AC)Awo Yakobo n’addira ejjinja n’alisimba ng’empagi. 46 N’agamba abantu be nti, “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne bagakuŋŋaanya ne bagatuuma entuumo, ne baliira[a] awo awali entuumo. 47 Labbaani entuumu n’agiyita Yegalusakadusa, ye Yakobo n’agiyita Galeedi.
48 Labbaani n’agamba nti, “Entuumo eno ye mujulirwa wakati wo nange leero.” Kyeyava agiyita Galeedi, 49 (AD)n’empagi n’agiyita Mizupa, kubanga yayogera nti, “Mukama atunulenga wakati wo nange, nga twawukanye omu okuva ku munne. 50 (AE)Bw’oliyisa obubi bawala bange, oba bw’olibawasizaako abakazi abalala, newaakubadde nga tewali muntu n’omu wakati waffe, ojjukire nti Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”
51 (AF)Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Laba entuumu eno n’empagi bye ntadde wakati wo nange. 52 (AG)Entuumu eno ye mujulirwa era n’empagi nayo mujulirwa nga nze sirisukka ntuumu eno na mpagi eno okukukola akabi. 53 (AH)Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli,[b] Katonda wa kitaabwe atulamule.”
Yakobo naye n’alayirira bw’atyo Katonda, Entiisa ya kitaawe Isaaka. 54 Yakobo n’awaayo ssaddaaka ku lusozi; n’ayita abantu be okulya; ne balya, ne basula ku lusozi ekiro ekyo.
55 (AI)Ku makya ennyo Labbaani n’agolokoka n’asiibula bazzukulu be ne bawala be ng’abagwa mu kifuba; n’abawa omukisa, n’addayo ewuwe.
創世記 31
Chinese Contemporary Bible (Traditional)
雅各逃離拉班
31 雅各聽見拉班的兒子們說:「雅各奪去了我們父親的一切!他的財富都是從我們父親那裡得來的。」 2 雅各發覺拉班對他的態度不如從前了。 3 這時,耶和華對雅各說:「回到你的家鄉和親族那裡吧!我必與你同在。」 4 於是,雅各就派人把拉結和利亞叫到放羊的地方, 5 對她們說:「我感到你們父親對我不如從前了,但我父親的上帝常與我同在。 6 你們知道我是怎樣盡心盡力地替你們父親工作, 7 他卻欺騙我,把我的工酬更改了十次。然而,上帝不讓他苦待我。 8 如果他說把有斑點的羊給我當酬勞,羊群生的就都是有斑點的;如果他說把有條紋的給我,羊群生的就都是有條紋的。 9 上帝就這樣把你們父親的牲畜奪過來給了我。
10 「在羊群交配的季節,我夢見所有和母羊交配的公羊都是有條紋或有斑點的。 11 在夢中,上帝的天使叫我,我說,『僕人在。』 12 他說,『拉班對你的所作所為,我都看見了。現在你留心看看,與母羊交配的公羊都是有條紋或有斑點的。 13 我就是你在伯特利遇見的上帝。你在那裡用油澆過柱子,向我許過願。現在,你要動身離開這裡,回到你的家鄉。』」
14 拉結和利亞說:「父親的家產沒有我們的份兒, 15 我們早就被當作外人了,他賣了我們,把我們的身價全部吞了。 16 上帝從我們父親那裡奪過來的一切財產,本來就屬於我們和我們的兒女。現在你只管照上帝的吩咐做吧!」
17 雅各便起來讓兒女和妻子都騎上駱駝, 18 帶著他在巴旦·亞蘭得到的所有牲畜和財物,啟程去迦南的父親以撒那裡。 19 那時拉班正在外面剪羊毛,拉結偷了父親的家庭神像。 20 雅各不辭而別,背著亞蘭人拉班偷偷地跑了。 21 他帶著所有的一切渡過幼發拉底河,逃往基列山區。
拉班追趕雅各
22 到了第三天,拉班才知道雅各逃走了。 23 於是,他帶著族人去追趕,追了七天,在基列山區追上了雅各。 24 當天晚上,上帝在夢中對亞蘭人拉班說:「你要當心,不可對雅各多說什麼。」
25 拉班追上了雅各,那時雅各在基列山搭起帳篷,拉班和他的族人也在那裡搭起帳篷。 26 拉班對雅各說:「你做的是什麼?你欺瞞我,把我的女兒像戰俘一樣帶走。 27 你為什麼要偷偷地溜走?你為什麼不告訴我,我好擊鼓、彈琴、唱歌歡送你? 28 你甚至不讓我親吻外孫和女兒,與他們道別,你這樣做真愚蠢。 29 我有能力傷害你,但你父親的上帝昨夜對我說,『你要小心,不可對雅各多說什麼。』 30 你思家心切,一定要走,但你為什麼要偷走我的神像呢?」
31 雅各對拉班說:「我逃跑是因為害怕你會奪回你的女兒。 32 至於你的神像,你在誰身上搜出來,誰就是該死的。你可以當著眾弟兄的面察看,如果在我這裡有什麼物件是你的,你只管拿走。」雅各不知道拉結偷走了神像。
33 拉班進入雅各、利亞和兩個婢女的帳篷搜查,卻搜不出什麼。拉班離開利亞的帳篷進入拉結的帳篷, 34 那時拉結已經把神像藏在駱駝的鞍座裡,自己坐在上面。拉班搜遍了整個帳篷什麼也找不到。 35 拉結對父親說:「父親,請別生氣,我有月事在身,不便起來。」結果,拉班搜來搜去找不到神像。
36 雅各發怒,斥責拉班說:「我做錯了什麼、犯了什麼罪以致你對我窮追不捨? 37 你搜遍我所有的東西,搜到了什麼?現在就當著眾弟兄的面拿出來,讓他們評評理吧! 38 我在你家這二十年,你的母綿羊、母山羊沒有掉過胎,我也沒有吃過你公羊的肉。 39 我沒有把被野獸撕裂的羊帶來給你,而是自己賠上。無論在白晝或黑夜被偷去的,你都要我賠償。 40 我白天受盡烈日煎熬,晚上飽嚐夜露寒霜,不得好睡。 41 這二十年來,我為了你的兩個女兒,替你工作了十四年,又用了六年才從你那裡得到這些羊,你把我的工錢更改了十次。 42 如果不是我父親以撒敬畏的上帝,就是亞伯拉罕的上帝與我同在,你肯定會讓我兩手空空地回家。但上帝看見了我的難處和勞苦,所以在昨夜責備了你。」
雅各和拉班立約
43 拉班回答說:「女兒是我的,這些孩子是我的,羊群也是我的,你的一切都是我的,我又怎會傷害我的女兒和她們的孩子呢? 44 來吧,你我立約為證。」 45 於是,雅各拿來一塊石頭,立作柱子, 46 又吩咐族人去收集石頭。他們把石頭堆成一堆,在旁邊吃喝。 47 拉班稱那石堆為伊迦爾·撒哈杜他[a],雅各卻稱那石堆為迦累得[b]。
48 拉班說:「今日,這石堆是你我之間的憑證。」因此,那地方名叫迦累得, 49 又叫米斯巴,因為拉班說:「我們分手以後,願上帝親自鑒察我們。 50 倘若你虐待我的女兒,或在她們以外另娶妻子,即使沒人知道,也有上帝在你我之間做見證。」
51 拉班又說:「看我在你我之間立的這石堆和石柱。 52 這石堆和石柱都是憑證,我一定不會越過石堆去害你,你也不可越過石堆和石柱來害我。 53 願亞伯拉罕和拿鶴的上帝,就是他們父親的上帝,在你我之間判斷是非。」雅各便在他父親以撒敬畏的上帝面前起誓, 54 又在山上獻祭,請眾弟兄吃飯。飯後,他們一同在山上過夜。
55 拉班清早起來,親吻外孫和女兒,給他們祝福,然後回家去了。
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.