出埃及记 17
Chinese New Version (Traditional)
擊磐出水(A)
17 以色列全體會眾都照著耶和華的吩咐,一站一站,從汛的曠野起程,在利非訂安營。在那裡人民沒有水喝。 2 因此人民與摩西爭吵,說:“給我們水喝吧。”摩西對他們說:“你們為甚麼與我爭吵呢?你們為甚麼試探耶和華呢?” 3 人民在那裡渴望得水喝,就向摩西發怨言,說:“你為甚麼把我們從埃及領上來,使我們和我們的兒女,以及我們的牲畜都渴死呢?” 4 摩西向耶和華呼求,說:“我要怎樣對待這人民呢?他們幾乎要用石頭打死我了。” 5 耶和華回答摩西:“你要到人民的面前,要帶著以色列的幾個長老和你一起,手裡要拿著你先前擊打河水的杖。 6 看哪,我必在何烈山那裡的磐石上站在你面前;你要擊打磐石,就必有水從磐石流出來,使人民可以喝。”摩西就在以色列的長老眼前這樣行了。 7 他給那地方起名叫瑪撒,又叫米利巴,因為以色列人在那裡爭吵,又因為他們試探耶和華,說:“耶和華是不是在我們中間呢?”
與亞瑪力人作戰
8 那時亞瑪力人來了,在利非訂和以色列人爭戰。 9 摩西對約書亞說:“你要為我們選出人來,出去和亞瑪力人爭戰;明天我要站在山頂上,手裡拿著 神的杖。” 10 於是,約書亞照著摩西吩咐他的行了,去和亞瑪力人爭戰;摩西、亞倫和戶珥都上了山頂。 11 摩西舉起手來的時候,以色列人就得勝;摩西把手放下來的時候,亞瑪力人就得勝。 12 可是摩西的兩手疲乏了,他們就搬塊石頭來,放在摩西下面,他就坐在上面;亞倫和戶珥,一邊一個,扶著摩西的兩手;這樣,他的兩手就穩住,直到日落的時候。 13 約書亞用刀打敗了亞瑪力王和他的人民。
14 耶和華對摩西說:“我要把亞瑪力的名號從天下完全抹掉;你要把話寫在書上作記念,也要告訴約書亞。” 15 摩西築了一座祭壇,給它起名叫“耶和華尼西”。 16 摩西又說:“向耶和華的旌旗舉手,耶和華必世世代代和亞瑪力人爭戰。”
Okuva 17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amazzi Agaava mu Lwazi
17 (A)Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa. 2 (B)Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”
3 (C)Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?”
4 (D)Musa n’akaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”
5 (E)Mukama n’addamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule. 6 (F)Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba. 7 (G)Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”
Olutalo Abayisirayiri lwe Baasooka Okulwana
8 (H)Awo Abamaleki[a] ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu. 9 (I)Musa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”
10 (J)Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi. 11 (K)Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba. 12 Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa. 13 Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala.
14 (L)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”
15 Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange. 16 N’agamba nti, “Kubanga Mukama alayidde okulwanyisa Abamaleki emirembe gyonna.”
Footnotes
- 17:8 Abamaleki baali bazzukulu ba mukoddomi wa Esawu, eyawasa muwala wa Esawu, era baanyaganga bunyazi batambuze mu ddungu.
Chinese New Version (CNV). Copyright © 1976, 1992, 1999, 2001, 2005 by Worldwide Bible Society.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
