Olubereberye 3:14-24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Mukama Katonda n’agamba omusota nti, Kubanga okoze kino
okolimiddwa okukira ensolo zonna ez’awaka
n’ez’omu nsiko,
oneekululiranga ku lubuto lwo
era onoolyanga nfuufu
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
15 (B)Nteeka obulabe
wakati wo n’omukazi,
ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi;
ezzadde lye linaakubetentanga omutwe,
naawe onoolibojjanga ekisinziiro.
16 (C)N’agamba omukazi nti,
“Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto,
onoozaaliranga mu bulumi;
musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga
kyokka anaakufuganga.”
17 (D)N’agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako,
“ensi ekolimiddwa ku lulwo;
mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulya
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
18 (E)Ensi eneekumerezanga amaggwa n’amatovu,
onoolyanga ebibala eby’omu nnimiro.
19 (F)Mu ntuuyo zo
mw’onoggyanga ekyokulya,
okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava,
kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.”
20 Omusajja n’atuuma omukazi erinnya Kaawa, oyo ye nnyina w’abalamu bonna.
21 Mukama Katonda n’akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo eby’amaliba n’abambaza. 22 (G)Awo Mukama Katonda n’agamba nti, “Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe okumanyanga ekirungi n’ekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe n’anoga ku muti ogw’obulamu n’alya, n’awangaala emirembe gyonna.” 23 (H)Bw’atyo Mukama Katonda n’agoba omuntu mu nnimiro Adeni agende alimenga ettaka mwe yaggyibwa. 24 (I)Bwe yamala okugobamu omuntu, n’ateekamu Bakerubi n’ekitala ekimyansa eky’obwogi ku buli ludda okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw’obulamu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.