Add parallel Print Page Options

15 Awo Yesu n’ababuuza nti, “Mmwe mundowooza kuba ani?”

16 (A)Simooni Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”

17 (B)Yesu n’amugamba nti, “Olina omukisa Simooni, omwana wa Yona, kubanga ekyo Kitange ali mu ggulu y’akikubikkulidde, so tokiggye mu bantu. 18 (C)Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, n’amaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula. 19 (D)Era ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu; era kyonna ky’onoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli ky’onoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga.”

Read full chapter