Engero 4:18-27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo,
eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
19 (B)Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte,
tebamanyi kibaleetera kwesittala.
20 (C)Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange;
osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
21 (D)ebigambo bino tebikuvangako,
bikuumire ddala mu mutima gwo,
22 (E)kubanga bya bulamu eri abo ababifuna,
era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
23 (F)Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,
kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
24 Weewalire ddala eby’obubambavu
era n’okwogera ebya swakaba.
25 Amaaso go gatunulenga butereevu,
era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
26 (G)Ttereeza bulungi amakubo go;
okwate amakubo ageesigika gokka.
27 (H)Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono;
ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.