Add parallel Print Page Options

(A)Lwaki abakozi b’ebibi bawangaala,
    ne bakaddiwa ne beeyongera n’amaanyi?
(B)Balaba abaana baabwe bwe banywezebbwa,
    ezzadde lyabwe nga balaba.
(C)Amaka gaabwe gaba n’emirembe nga temuli kutya;
    omuggo gwa Katonda tegubabeerako.
10 (D)Ennume zaabwe teziremererwa,
    ente zaabwe enkazi zizaala awatali kusowola mwana gwazo.

Read full chapter