Add parallel Print Page Options

16 Bw’atyo Esawu n’addayo ku lunaku olwo mu Seyiri. 17 (A)Naye Yakobo n’alaga mu Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n’azimbira n’ensolo ebisiisira; ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Sukkosi.

18 (B)Era Yakobo n’atuuka mirembe mu kibuga Sekemu, mu nsi ya Kanani, ng’ava e Padanalaamu, n’asiisira okwolekera ekibuga. 19 (C)Abaana ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ne bamuguza ekitundu mwe yasiisira, n’abasasula ebitundu bya ffeeza kikumi. 20 N’azimbira eyo ekyoto n’akiyita Ekyoto kya Katonda wa Isirayiri.

Read full chapter