Nakkumu 1:9-15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 Buli kye mwekobaana okukola Mukama,
alikikomya.
Akabi tekalijja mulundi gwakubiri.
10 (A)Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye,
era nga batamidde,
balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.
11 Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu
alowooza akabi
era ateesa ebibi ku Mukama.
12 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi,
balizikirizibwa ne baggwaawo.
Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange,
siriddayo kukikola nate.
13 (C)Kaakano nzija kumenya ekikoligo kyabwe nkibaggyeko
era n’ebibasibye nnaabikutulakutula.”
14 (D)Kino Mukama ky’alagidde ekikwata ku Nineeve:
“Erinnya lyo terikyayala nate.
Ndizikiriza ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse
ebiri mu masabo g’abakatonda bo;
ndisima entaana yo
kubanga oyinze obugwagwa.”
15 (E)Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba,
ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi,
alangirira emirembe.
Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu,
era otuukirize obweyamo bwo;
omubi kaakano takyakulumba,
azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.