Add parallel Print Page Options

10 (A)“Awo n’olyoka omenya ensumbi abo b’ogenze n’abo nga balaba, 11 (B)obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula. 12 Kino kye ndikola ekifo kino n’abo abakibeeramu, bw’ayogera Mukama. Ekibuga kino ndikifuula nga Tofesi. 13 (C)Amayumba g’omu Yerusaalemi n’aga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ng’ago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda ab’omu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ”

Read full chapter