Okuva 2:15-22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Awo Falaawo bwe yakiwulira, n’agezaako okutta Musa. Naye Musa n’aviira Falaawo, n’addukira mu nsi ya Midiyaani;[a] n’atuula awali oluzzi. 16 (B)Waaliwo kabona mu Midiyaani eyalina abaana be abawala musanvu, ne bajja okusena amazzi bajjuze ebyesero banywese endiga za kitaabwe. 17 (C)Kyokka ne wabaawo abasumba ne bajja ne babagobawo; naye Musa n’asituka n’abalwanirira, n’anywesa endiga zaabwe.
18 (D)Abawala bwe baddayo eka eri kitaabwe Leweri,[b] n’ababuuza nti, “Nga mukomyewo mangu leero?” 19 Ne bamuddamu nti, “Omusajja Omumisiri atulwaniridde ng’abasumba batujoogereza; y’atusenedde n’amazzi n’anywesa ekisibo kyaffe.” 20 (E)N’abuuza bawala be nti, “Ali ludda wa? Ye lwaki mumuleseeyo? Mumuyite ajje alye ku mmere.”
21 (F)Musa n’akkiriza. N’abeerera ddala mu maka ga Leweri. Leweri n’awa Musa muwala we Zipola okuba mukyala we. 22 (G)Zipola n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Musa n’amutuuma erinnya Gerusomu, ng’agamba nti, “Kubanga ndi mugwira mu nsi etali yange.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.