Add parallel Print Page Options

29 (A)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’ajja ku Yefusa; Yefusa n’asomoka Gireyaadi ne Manase, n’ayita ne mu Mizupa eky’e Gireyaadi, era mu Mizupa eky’e Gireyaadi gye yava okulumba abaana ba Amoni. 30 (B)Yefusa ne yeeyama eri Mukama Katonda ng’agamba nti, “Bw’onogabula abaana ba Amoni mu mukono gwange, 31 ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z’ennyumba yange nga nkomyewo mu buwanguzi, ne kinyaniriza nga nva mu baana ba Amoni, ndikiwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.”

32 Awo Yefusa n’alumba abaana ba Amoni n’abalwanyisa, era Mukama Katonda n’abagabula mu mukono gwe. 33 (C)N’abakuba okuva ku Aloweri okutuuka e Minnisi, bye bibuga amakumi abiri, n’okutuukira ddala ku Aberukeramimu; n’abakubira ddala era abaana ba Isirayiri ne bawangulira ddala abaana ba Amoni.

34 (D)Awo Yefusa bwe yakomawo e Mizupa mu maka ge, laba muwala we n’ajja okumukulisaayo ng’akuba ebitaasa era ng’amuzinira. Ye mwana yekka gwe yalina. 35 (E)Yefusa bwe yamulaba, n’ayuza engoye ze, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zinsaze muwala wange. Onnakuwazizza nnyo, era ondeetedde ennaku, kubanga neeyama eri Mukama Katonda, so siyinza kukimenyawo.”

36 (F)Awo muwala we n’amugamba nti, “Kitange weeyama eri Mukama. Kola ekyo kye weeyama eri Mukama Katonda, kubanga awooledde eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.” 37 N’agamba kitaawe nti, “Nkusaba ekintu kimu kyokka, onzikirize ŋŋende ne mikwano gyange mu nsozi okumala emyezi ebiri, ne kaabireko kubanga ndi mbeerera.”

38 N’amugamba nti, “Genda.” N’agenda n’amala emyezi ebiri mu nsozi ng’ali ne bawala banne nga yeekaabirako olw’okuba yali mbeerera. 39 Oluvannyuma lw’emyezi ebiri, omuwala n’akomawo eri kitaawe, era kitaawe n’amuwaayo, nga bwe yeeyama. Yali muwala mbeerera.

Era okwo kwe kwava empisa mu Isirayiri 40 okuva mu biro ebyo, nti abawala mu Isirayiri bajjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi okumala ennaku nnya buli mwaka.

12 (G)Abasajja ba Efulayimu ne bayitibwa okusomoka okulaga mu Zafoni. Ne bagamba Yefusa nti, “Lwaki wagenda okulwanyisa abaana ba Amoni, n’otatuyita kugenda naawe? Tugenda kukwokera mu nnyumba yo.”

Yefusa n’abaddamu nti, “Nze n’abantu bange twatawaana nnyo okulwanyisa abaana ba Amoni, era nabakoowoola mujje mutubeere, naye temwajja kutubeera kuva mu mukono gwabwe. (H)Bwe nalaba nga temuzze kutubeera, ne nteeka obulamu bwange mu ngalo zange, ne nsomoka okulwana n’abaana ba Amoni, era Mukama Katonda n’abagabula mu mukono gwange. Kaakano kiki ekibaleeta gye ndi okulwana nange leero?”

Awo Yefusa n’akuŋŋaanya abantu b’e Gireyaadi bonna, ne balwanyisa Efulayimu. Abasajja ab’e Gireyaadi baabalwanyisa kubanga Efulayimu baayogera nti, “Mmwe muli bakyewaggula ba Efulayimu ab’e Gireyaadi, wakati mu Efulayimu ne mu Manase.” (I)Ab’e Gireyaadi ne bawamba ebifo bya Yoludaani okusomokerwa okutuuka mu Efulayimu, era bwe waabangawo ku bakomawo aba Efulayimu eyayagalanga okusomoka, abasajja ab’e Gireyaadi nga bamubuuza nti, “Oli Mwefulayimu?” Bwe yeegananga, nga bamugamba ayogere nti, “Shibbolesi.” Bwe yayogeranga nti, “Sibbolesi,” kubanga teyayinzanga kukyogera bulungi, ng’akwatibwa era ng’attibwa awo awasomokerwa ku Yoludaani. Mu biro ebyo, mu Efulayimu ne mufaamu abantu emitwalo ena mu enkumi bbiri.

Awo Yefusa n’alamula Isirayiri okumala emyaka mukaaga. Yefusa Omugireyaadi n’afa, n’aziikibwa mu kimu ku kibuga bya Gireyaadi.

Okufuga kwa Ibuzaani ne Eroni ne Abudoni

Oluvannyuma lwa Yefusa, Ibuzaani ow’e Besirekemu[a] n’alamula Isirayiri. Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu, n’abaana aboobuwala amakumi asatu. Bawala be n’abafumbiza abantu abataali ba kika kye, ne batabani be n’abawasiza abawala abataali ba kika kye. N’akulembera Isirayiri okumala emyaka musanvu. 10 Ibuzaani n’afa, n’aziikibwa mu Besirekemu.

11 Oluvannyuma lwa Ibuzaani, Eroni Omuzebbulooni, n’alamula Isirayiri okumala emyaka kkumi. 12 Eroni Omuzebbulooni n’afa, n’aziikibwa mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni.

13 Awo oluvannyuma lwa Eroni, Abudoni mutabani wa Kereri Omupirasoni n’alamula Isirayiri. 14 (J)Yalina abaana aboobulenzi amakumi ana, n’abazzukulu amakumi asatu abeebagalanga endogoyi nsanvu. Yalamula Isirayiri okumala emyaka munaana. 15 (K)Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n’afa, n’aziikibwa mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu nsi ey’Abamaleki ey’ensozi.

Okuzaalibwa kwa Samusooni

13 (L)Awo abaana ba Isirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama. Mukama Katonda kyeyava abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti okumala emyaka amakumi ana. (M)Ne wabaawo omusajja ow’e Zola, ow’omu kika ky’Abadaani, erinnya lye Manowa, eyalina mukazi we nga mugumba. (N)Malayika wa Mukama Katonda n’alabikira omukazi n’amugamba nti, “Laba, kaakano, oli mugumba era atazaalanga ku mwana, naye oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi. (O)Laba nga tonywa envinnyo, newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. (P)Kubanga, laba, oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi, era tamwebwangako nviiri, kubanga omulenzi aliba Muwonge wa Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era yalitanula okulokola Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”

(Q)Awo omukazi n’agenda n’ategeeza bba, ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda yandabikidde mu kifaananyi kya malayika wa Katonda, era natidde nnyo. Simubuuzizza gy’avudde, ate era naye tambulidde linnya lye. Wabula yaŋŋambye nti, ‘Laba oliba olubuto era olizaala omwana wabulenzi. Tonywanga envinnyo newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Kubanga omulenzi aliba Muwonge eri Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era bw’atyo bw’aliba ennaku ez’obulamu bwe zonna.’ ”

Awo Manowa ne yeegayirira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Ayi Mukama, omusajja wa Katonda gwe watutumidde, akomewo. Ajje atuyigirize kye tuteekwa okukolera omulenzi anaatuzaalirwa.” Katonda n’awulira eddoboozi lya Manowa, malayika wa Katonda n’akomawo eri omukazi, n’amusanga mu nnimiro, naye nga Manowa bba tali naye. 10 Awo omukazi n’ayanguwa n’adduka n’ategeeza bba ng’agamba nti, “Laba omusajja eyandabikira olulala azze.”

11 Manowa n’agolokoka n’agoberera mukazi we. Bwe yatuuka awali omusajja n’amugamba nti, “Ggwe musajja eyayogera eri mukazi wange?” Malayika n’amuddamu nti, “Ye nze.” 12 Manowa n’amubuuza nti, “Ebigambo byo bwe birituukirira, biragiro ki bye tuligoberera nga tukuza omulenzi?” 13 Malayika wa Mukama Katonda n’addamu Manowa nti, “Ebyo byonna bye nagamba mukazi wo ateekwa okubikola. 14 (R)Mukazi wo tateekwa kulya kibala ekiva mu zabbibu, newaakubadde okunywa envinnyo, newaakubadde okunywa ekitamiiza, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Ateekwa okukola buli kintu kye namulagira.” 15 (S)Awo Manowa n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Sigala wano naffe, tukuteekereteekere akabuzi akato.” 16 (T)Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Manowa nti, “Ne bwe nnaasigala nammwe, sijja kulya ku mmere yammwe. Wabula bwe munaateekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, mukiweeyo eri Mukama.” Mu kiseera ekyo Manowa teyamanya nga gwe yali ayogera naye yali malayika wa Mukama. 17 (U)Awo Manowa n’abuuza malayika wa Mukama Katonda nti, “Erinnya lyo ggwe ani, ekigambo ky’oyogedde bwe kirituukirira tulyoke tukuseemu ekitiibwa?”

18 (V)Malayika wa Mukama Katonda n’amuddamu nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Lisukka okutegeera.” 19 (W)Awo Manowa n’addira akabuzi akato, n’ekiweebwayo eky’empeke, n’abiwaayo nga ssaddaaka ku lwazi eri Mukama Katonda. Ne wabaawo eky’ekyewuunyo nga Manowa ne mukazi we balaba. 20 (X)Omuliro bwe gwava mu Kyoto okugenda eri eggulu, malayika wa Mukama Katonda n’akkira mu muliro gw’ekyoto. Manowa ne mukazi we bwe baamulaba, ne bagwa wansi ne bavuunama ng’obwenyi bwabwe butuukira ddala ku ttaka. 21 (Y)Malayika wa Mukama bw’ataddayo kweraga gye bali, Manowa ne mukazi we ne bategeera ng’abadde malayika wa Mukama Katonda.

22 (Z)Manowa n’agamba mukazi we nti, “Tugenda kufa kubanga tulabye Katonda.” 23 (AA)Naye mukazi we n’amugamba nti, “Singa Mukama Katonda yabadde wa kututta, teyandisiimye kiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo eky’empeke okuva gye tuli, newaakubadde okutulaga ebintu bino byonna, wadde okututegeeza kino.”

24 (AB)Awo omukazi n’azaala omwana wabulenzi, n’amutuuma Samusooni. Omwana n’akula, Mukama Katonda n’amuwa omukisa. 25 (AC)Omwoyo wa Mukama Katonda n’atandika okukolera mu Samusooni ng’ali mu Makanedani ekiri wakati w’e Zola ne Esutaoli.

Samusooni Awasa

14 (AD)Awo Samusooni n’aserengeta e Timuna[b] n’alaba omukazi mu bawala ab’Abafirisuuti. (AE)N’addayo eka, n’ategeeza kitaawe ne nnyina ng’agamba nti, “Nalabye omukazi ku bawala ab’Abafirisuuti mu Timuna. Kale mumumpasize kaakano.”

(AF)Awo kitaawe ne nnyina ne bamugamba nti, “Tewali mukazi n’omu mu baganda bo newaakubadde mu Bantu bange gw’oyinza kuwasa, olyoke ogende ofune omukazi okuva mu Bafirisuuti abatali bakomole?”

Naye Samusooni n’addamu kitaawe nti, “Mpasiza oyo kubanga ye gwe nsiimye.” (AG)Kitaawe ne nnyina tebaamanya ekyo nga kyava eri Mukama Katonda, kubanga Mukama yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Mu biro ebyo Abafirisuuti be baafuganga Isirayiri. Awo Samusooni ne kitaawe ne nnyina ne bagenda e Timuna. Bwe baali basemberedde ennimiro z’emizabbibu egy’omu Timuna, empologoma ento n’ewuluguma nga bw’emulumba. (AH)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’ayuzaayuza empologoma n’emikono gye ng’ayuzaayuza akabuzi akato, naye n’atabaako ky’ategeeza kitaawe newaakubadde nnyina. Samusooni n’aserengeta n’agenda n’anyumya n’omukazi era n’amusiima.

Ebbanga bwe lyayitawo, n’addayo okumuwasa, naye aba ali ku lugendo, n’akyama okulaba omulambo gw’empologoma, era laba, nga mu mulambo gw’empologoma mulimu enjuki n’omubisi gw’enjuki. N’atoola ku mubisi n’engalo ze, n’atambula n’agenda. Bwe yasiŋŋaana kitaawe ne nnyina nabo n’abawaako ne balya, wabula n’atabagamba nti omubisi ogwo gwe balya aguggye mu mulambo gw’empologoma.

10 Awo n’aserengeta ne kitaawe eri omukazi, era Samusooni n’akolerayo embaga ng’empisa y’abawasa bwe yali. 11 Abafirisuuti bwe bajja okulaba Samusooni, ne bamuwa bannaabwe amakumi asatu okumuwerekerako.

12 (AI)Awo Samusooni n’abagamba nti, “Kaakano ka mbakokkolere ekikokko. Bwe mulikivvuunula ennaku omusanvu ez’embaga nga tezinnaggwaako, ndibawa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, n’emiteeko gy’engoye amakumi asatu. 13 Naye bwe kinaabalema okuddamu, muteekwa okumpa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, n’emiteeko gy’engoye amakumi asatu.” Ne bamugamba nti, “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.”

14 N’abagamba nti,

“Mu muli mwavaamu ekyokulya
    Mu w’amaanyi mwavaamu ekiwoomerera.”

Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvvuunula ekikokko.

15 (AJ)Awo ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko. Bwe kitaabe bwe kityo tujja kukwokya omuliro ggwe n’ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutunyaga, si bwe kiri?” 16 (AK)Mukazi wa Samusooni n’agenda gy’ali ng’akaaba amaziga, ng’agamba nti, “Ddala ddala onkyawa so tonjagala. Wakokkolera abasajja b’omu bantu bange ekikokko, naye n’otakivvuunula.”

N’amuddamu nti, “Laba sinnakivuunulira kitange newaakubadde mmange, noolwekyo lwaki nkikuvuunulira?” 17 (AL)N’amukaabirira okumala ebbanga eryo lyonna ery’embaga, olwo n’alyoka akimuvuunulira, kubanga yamwetayirira nnyo. N’oluvannyuma omukazi n’annyonnyola abasajja b’omu bantu be ekikokko. 18 (AM)Awo ku lunaku olw’omusanvu enjuba nga tennagwa abasajja ab’omu kibuga ne bagamba Samusooni nti,

“Kiki ekisinga omubisi gw’enjuki okuwoomerera?
    Kiki ekisinga empologoma amaanyi?”

N’abaddamu nti,

“Singa temwalimya nnyana yange,
    temwandivuunudde kikokko kyange.”

19 (AN)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’aserengeta e Asukulooni[c] n’atta abasajja amakumi asatu, n’abambulamu ebyambalo byabwe, engoye zaabwe n’aziwa abavvuunula ekikokko. N’anyiiga nnyo, n’ayambuka n’addayo ewa kitaawe. 20 (AO)Mukazi wa Samusooni ne bamuwa mukwano gwe, eyabeeranga ne Samusooni.

15 (AP)Awo ebbanga bwe lyayitawo, ng’ebiro eby’okukungula eŋŋaano bituuse, Samusooni n’agenda okukyalira mukazi we ng’amutwalidde akabuzi akato. N’ayogera nti, “Nnaagenda eri mukazi wange mu kisenge.” Naye kitaawe w’omukazi n’atamukkiriza kugenda yo[d]. (AQ)Kitaawe w’omukazi n’agamba Samusooni nti, “Nze nalowooza nti wamukyayira ddala, kyennava mugabira mukwano gwo. Muganda we omuto amusinga okulabika obulungi. Kaakano gw’oba otwala mu kifo ky’oli.”

Samusooni n’abagamba nti, “Ku mulundi guno sirina musango, Abafirisuuti bwe nnaabakola akabi.” Awo Samusooni n’agenda n’akwata ebibe ebikumi bisatu, n’asiba bibiri bibiri emikira, n’akwataganya emikira, n’addira ebitawuliro n’ateeka ekitawuliro wakati w’emikira kinneebirye. N’akoleeza ebitawuliro, n’ata ebibe okugenda mu nnimiro z’Abafirisuuti. N’ayokya ebinywa n’eŋŋaano eyali tennakungulwa, n’ennimiro z’emizeeyituuni n’ennimiro z’emizabbibu.

(AR)Awo Abafirisuuti bwe baabuuza akoze bwe kityo, ne boogera nti, “Ye Samusooni mukoddomi w’Omutimuna, kubanga Omutimuna yaddira mukazi wa Samusooni, n’amuwa mukwano gwa Samusooni.”

Abafirisuuti ne bagenda ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro. Samusooni n’abagamba nti, “Olw’okuba nga mweyisizza bwe mutyo, sirirekayo okuggyako nga mbawalanyeeko eggwanga.” N’abalumba n’atta bangi nnyo ku bo, n’agenda n’abeera mu mpuku ey’omu lwazi lw’e Etamu.

(AS)Abafirisuuti ne bayambuka ne basiisira mu Yuda, ne basaasaana okumpi ne Leki. 10 Abantu ba Yuda ne bababuuza nti, “Lwaki mutulumbye?” Abafirisuuti ne babaddamu nti, “Tuzze okuwamba Samusooni tumutwale nga musibe, tumwesasuze nga bwe yatukola.”

11 (AT)Awo abasajja enkumi ssatu okuva mu Yuda ne bagenda ku mpuku y’olwazi lw’e Etamu ne bagamba Samusooni nti, “Tewamanya ng’Abafirisuuti be batufuga? Kaakano kiki kino ky’otukoze?” N’abaddamu nti, “Nneesasuzza kye bankola.” 12 Ne bamuddamu nti, “Tuzze okukusiba tukuweeyo mu mukono gw’Abafirisuuti.” Samusooni n’abagamba nti, “Mundayirire nga temunzitte mmwe mwennyini.”

13 Ne bamuddamu nti, “Tukkiriziganyizza. Tujja kukusiba busibi, tukuweeyo mu mukono gwabwe, naye tetujja kukutta.” Ne bamusiba emiguwa ebiri emiggya ne bamuggyayo mu mpuku. 14 (AU)Bwe yali asemberera Leki Abafirisuuti ne bajja gy’ali nga baleekaana. Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, emiguwa egyali gimusibye emikono ne giba ng’obugoogwa obwokeddwa omuliro, ne gisumulukuka okuva ku mikono gye. 15 (AV)N’alaba oluba lw’endogoyi olutannavunda, n’alukwata, n’akuba abasajja lukumi.

16 Samusooni n’alyoka ayogera nti,

“Nkozesezza oluba lw’endogoyi
    okukola entuumu bbiri;
nkozesezza oluba lw’endogoyi
    okutta abasajja lukumi.”

17 Bwe yamala okwogera ekyo, n’akanyuga oluba n’alusuula, ekifo ekyo n’akituuma Lamasuleki. 18 (AW)N’alumwa nnyo ennyonta, n’akabira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Omuddu wo omuwadde obuwanguzi olw’amaanyi; ne kaakano nfe, ngwe mu mukono gw’abatali bakomole?” 19 (AX)Katonda n’akola ekinnya mu Leki, ne muvaamu amazzi, kwe yanywa n’addamu amaanyi, n’aba mulamu. Ekifo ekyo kyeyava akituuma Enkakkole, era kikyaliyo mu Leki n’okutuusa leero.

20 (AY)Samusooni n’akulembera Isirayiri mu biro by’Abafirisuuti, okumala emyaka amakumi abiri.

Footnotes

  1. 12:8 Besirekemu oyo si ye Besirekemu wa Yuda. Ekibuga ekyo kyali mu kitundu eky’e Zebbulooni.
  2. 14:1 Timuna kyali kibuga mu Ddaani (Yos 19:43). Abafirisuuti baateranga okukibeeramu ng’Abayisirayiri tebannakiwambira ddala
  3. 14:19 Asukulooni kyali kibuga ky’Abafirisuuti.
  4. 15:1 Ekirabo ekyaweebwangayo mu biseera ebyo, omuntu okuwasa omuwala, kaali kabuzi kato (Lub 38:17). Mu bufumbo obw’ekika ekyo mu bitundu ebyo eby’ensi, omugole yasigalanga mu nnyumba ne kitaawe. Kitaawe w’omuwala teyafunanga birabo ebireetebwa ng’omuwala afumbirwa, kyokka bba w’omuwala bwe yajjanga okukyalira mukyala we, yabangako ebirabo byaleetera kitaawe w’omuwala