Add parallel Print Page Options

(A)Ttuulo kyezimbira ekigo
    ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu,
    ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.
(B)Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo,
    alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja,
    era kiryokebwa omuliro.
Asukulooni bino kiribiraba ne kitya;
    ne Gaza bwe kityo kiribeera mu kulumwa okw’amaanyi.
    Era n’essuubi lya Ekuloni liriggwaawo;
Gaza aliggyibwako kabaka we,
    ne Asukulooni tekiribaamu bantu.

Read full chapter