Add parallel Print Page Options

Okulabula kw’Omusango n’Okuzikirizibwa kwa Yuda

(A)“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
(B)“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo;
    ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga
    n’ebyennyanja;
ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo;
    bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”
    bw’ayogera Mukama.
(C)Ndigololera ku Yuda omukono gwange,
    era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi;
era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali,
    bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,

Read full chapter