Zabbuli 97:10-12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,
akuuma obulamu bw’abamwesiga,
n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 (B)Omusana gwe gwakira abatuukirivu,
n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 (C)Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,
era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.
Zabbuli 112:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.