Zabbuli 144:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
Oluyimba 4:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Ensingo yo eri ng’omulongooti gwa Dawudi,
ogwatereezebwa obulungi;
ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi,
zonna nga ngabo z’abasajja abalwanyi.
Okubala 21:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.
Read full chapter
Oluyimba 5:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira
ezisimbibwa mu zaabu ennungi.
Mu ndabika afaanana Lebanooni
omulungi ng’emivule gyayo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.