Yobu 15:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Atya okuva mu kizikiza adde,
ekitala kiba kimulinze okumusala.
Yobu 16:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)abakubi b’obusaale banneetoolodde.
Awatali kusaasira, afumita ensigo zange,
omususa gwange ne guyiika ku ttaka.
Engero 6:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati,
era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
Omubuulizi 7:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,
ye mukazi alina omutima ogusendasenda,
era ogusikiriza,
era emikono gye gisiba ng’enjegere.
Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,
kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.
Omubuulizi 9:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako.
Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo,
oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego,
n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi,
ebibatuukako nga tebabyetegekedde.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.