Add parallel Print Page Options

(A)Nneme okubabonereza olw’ebintu bino?”
    bw’ayogera Mukama.
“Seesasuze ku ggwanga
    eriri nga lino?”

10 (B)Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
    era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.
Galekeddwa awo era tegayitwamu,
    n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.
Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa
    n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.

11 (C)“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,
    ekisulo ky’ebibe.
Era ndyonoona ebibuga bya Yuda
    waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”

Read full chapter