Add parallel Print Page Options

(A)Olulimi lwabwe kasaale akatta,
    lwogera bya bulimba,
buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke,
    naye mu mutima gwe ategeka kumutega.
(B)Nneme okubabonereza olw’ebintu bino?”
    bw’ayogera Mukama.
“Seesasuze ku ggwanga
    eriri nga lino?”

10 (C)Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
    era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.
Galekeddwa awo era tegayitwamu,
    n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.
Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa
    n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.

Read full chapter