Add parallel Print Page Options

Buli muntu alimba muliraanwa we
    era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
    ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
(A)Mubeera wakati mu bulimba;
    mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

(B)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa,
    kiki ate kye nnaakolera abantu bange
    kubanga boonoonye?

Read full chapter