Add parallel Print Page Options

(A)“Bategeka olulimi lwabwe
    ng’omutego ogunasula obulimba;
bakulaakulanye mu ggwanga
    naye nga tebayimiridde ku mazima,
kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;
    era tebammanyi,”
    bw’ayogera Mukama.
(B)“Mwegendereze mikwano gyammwe
    era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
    na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
Buli muntu alimba muliraanwa we
    era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
    ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.

Read full chapter