Add parallel Print Page Options

11 (A)“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,
    ekisulo ky’ebibe.
Era ndyonoona ebibuga bya Yuda
    waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”

12 (B)Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?

13 (C)Mukama n’agamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange.

Read full chapter