Add parallel Print Page Options

10 (A)Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
    era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.
Galekeddwa awo era tegayitwamu,
    n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.
Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa
    n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.

11 (B)“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,
    ekisulo ky’ebibe.
Era ndyonoona ebibuga bya Yuda
    waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”

12 (C)Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?

Read full chapter