Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe,
    nammwe mulitwalibwa ng’abaddu,
ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse
    awamu ne bakabona be n’abakungu be.
Omuzikiriza alirumba buli kibuga,
    era tewali kibuga kiriwona.
Ekiwonvu kiryonoonebwa
    n’olusenyu luzikirizibwe
    kubanga Mukama ayogedde.
Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende
    kubanga alifuuka matongo,
ebibuga bye birizikirizibwa,
    nga tewali abibeeramu.

Read full chapter